TOP

Dokita w'e Mbale atemuddwa mu ntiisa!

Added 26th May 2020

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Namatala mu munisipaali y’e Mbale, omusawo ate nga mutuuze mu kitundu kino, bw’asangiddwa ng’attiddwa abatemu abatannategeerekeka.

 Omuzigo omuggale Dr. Eyapi mw’abadde asula.

Omuzigo omuggale Dr. Eyapi mw’abadde asula.

Dr. Rogers Eyapi, abadde akolera mu Mbale Referral Hospital, yatemuddwa abatemu abaamulondodde okuva ku ddwaaliro ne bamukuba ennyondo ku mutwe n'agwa ku mulyango gw'ekikomera kye ng'ayingira awaka.

Abatuuze bategeezezza nti omugenzi abadde yeeyisa bulungi era ng'ayanguyira nnyo abatuuze naddala mu kujjanjaba. Ennyondo yamwabizza akawompo, era yasangiddwa ng'aliko ekiwundu eky'amaanyi ku mutwe.

Zaituna Akello, muliraanwa w'omugenzi, yagambye nti baawulidde okulwanagana ng'omuntu asaba obuyambi, baagenze okufuluma ne bawulira enswagiro ng'abatemu badduka. Oluvannyuma poliisi yazze n'etwala omulambo mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, ASP Rogers, yagambye nti poliisi yayungudde dda abakessi era yatandise dda okuyigga abatemu.

Basawo banne bali mu kiyongobero, era baategeezezza nti abadde mumalirivu mu buli ky'akola, nga bafiiriddwa omusawo ow'amaanyi mu kiseera eggwanga we libeetaagira ennyo.

Abamu ku baliraanwa b'omugenzi baategeezezza nti awaka abadde abeerawo yekka oluvannyuma lw'okuweereza mukyala we n'abaana babiri mu kyalo e Kadimukoli mu Budaka, bukya kalantiini wa Corona atandika.

Poliisi yagambye nti kirabika abatemu abasse Eyapi baabadde bangi kubanga abadde musajja wa maanyi era baasoose kunyoolagana naye. Ku nnyondo gye bamukubye baagasseeko okumufumita ekyuma ekyafulumidde mu kyenyi.

Embwa ya poliisi eyaleeteddwa yalemeddwa okukonga olusu olw'abantu abaabadde balinnyiridde ekifo kyonna.

Omulambo gukyali mu ggwanika e Mbale nga bwe bakola ku nteekateeka z'okuziika.

Akulira Mbale Regional Referral Hospital, Dr. Emmanuel Tugaineyo, yagambye nti Dr. Eyapi abadde mukozi mulungi, wabula n'annyonnyola nti okutemulwa yabadde ava mu kitundu ky'e Malukhumu mu mikwano gye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...