TOP

Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe

Added 26th May 2020

JUSTINE Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe omukozi w’oku Ttiivi bwe bamaze ekiseera nga bagugulana kyokka ono amulabudde okwegendereza bba, Umar Ssali gw’agamba nti yandimusuula mu bizibu ebirala.

 Nameere ne Nakazibwe

Nameere ne Nakazibwe

JUSTINE Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe omukozi w'oku Ttiivi bwe bamaze ekiseera nga bagugulana kyokka ono amulabudde okwegendereza bba, Umar Ssali gw'agamba nti yandimusuula mu bizibu ebirala.

Nameere eyabadde ayogeza obukkakkamu yategeezezza nti amaze okulagira balooya be okuggyayo n'emisango gyonna gye yali aggudde ku Nakazibwe mu kkooti ne ku poliisi.

Ababiri bano bamaze ebbanga nga bagugulana, oluvannyuma lwa Nakazibwe okutegeeza nti Nameereyali atabula obufumbo bwe ne nkuba kyeyo, Umar Ssali, Nameere kwe kuddukira mu kkooti n'aggula ku Nakazibwe emisango omuli okumwonoonera erinnya n'okumwogerako kalebule.

Wabula Nameere agamba nti oluvannyuma lw'okutuukirirwa abantu ab'obuvunaanyizibwa abawerako okuli ne Maama Fiina nga bamusaba asonyiwe Nakazibwe naye kwe kwekuba mu mutima n'amusonyiwa. Ekirala agamba nti yagenze okulaba ng'olutalo lwe balimu terulina gye lubatwala, nti kubanga ne bw'anaaba asinze Nakazibwe mu kkooti, talina ssente z'ayinza kumuliyirira kwe kusalawo ensonga azirekere Katonda.

"Ekirungi ensi amazima yagategedde nti Nakazibwe yampaayiriza wadde ye yagaanyi okuvaayo mu lwatu okunneetondera. Ng'omuntu alina erinnya ery'okukuuma era atwalibwa ng'ekyokulabirako ate nga waliwo n'abantu ab'obuvunaanyizibwa abantuukiridde, Nakazibwe musonyiye kyokka ssinga kamutanda n'addamu okunnumba oba okumpaayiriza ku mulundi guno agenda kulaba Nameere omutuufu."

Wabula Nameere w'aviiriddeyo okwogera bino ng'aba wagizi ba Nakazibwe batandise okumutabukira nga bamulanga okwesiba ku linnya lya ssereebu waabwe, okumulumba n'okumwogerera amafuukule ng'ayita ku mikutu gy'amawulire egy'enjawulo kw'abadde ayogerera ennaku zino.

Ku wiikendi Nameere aliko emikutu gya ttiivi kwe yabadde ng'ayogera ku nsonga ze ne Nakazibwe kyokka Nakazibwe naye ng'ayita ku mikutu gye egya ‘social media' obwedda awereeza obubaka obukoona Nameere ng'agamba nti ye mazzi mawanvu n'ebirala.

Wadde nga Nameere okusonyiwa Nakazibwe abawagizi ba Nakazibwe bakuyise kupondooka, bano Nameere abaanukudde ng'agamba nti ye tafaayo kasita ensi yategedde amazima.

Mu bubaka bwe yatadde ne ku mukutu gwe ogwa Face book okulaga nti amusonyiye yamuweerezza n'ekyawandiikibwa ekya Matayo 18:21-35

"NAMEERE ALI MU KATEMBA"

Bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga y'okumusonyiwa, Nakazibwe yasoose kuseka ng'agamba nti oyo katemba era tayagala kumubeeramu. "Nze Nameere sinnamusaba kisonyiwo. Ye yagenda mu kkooti era okusinziira ku kye mmanyi, kkooti tennaba kutuuka kuwulira musango."

Yayongeddeko nti, "Sinnategeezebwa mu butongole okuva gy'ali oba mu balooya be ku nsonga gy'ayogerako.

Nameere ayogedde bingi nga nze nsirise era akyayogera naye amazima gali nti nze saagala kubeera mu katemba we ndeka nkuume ekitiibwa ne kkiraasi yange."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...