TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Poliisi aggyiddwa mu ofiisi lwa nsonga za ttaka

Owa Poliisi aggyiddwa mu ofiisi lwa nsonga za ttaka

Added 26th May 2020

AMYUKA ddayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Joseph Obwona aggyiddwa mu ofiisi nga bw’anoonyerezebwako ku bigambibwa nti yayambako omugagga Abid Alam okusengula abantu ku ttaka ly’e Kassanda eririko enkaayana.

 Obwona

Obwona

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, kituufu Obwona yalagiddwa okuva mu ofiisi nga bw'anoonyerezebwako wabula n'agamba nti, ebisingawo ku misango gye yabadde tannabitegeera.

Okuggya Obwona mu ofiisi, kiddiridde Lt. Col. Edith Nakalema akulira okulwanyisa obuli bw'enguzi mu maka g'obwaulezidenti okukwata abaserikale ba poliisi bana abagambibwa okwekobaana ne Abid okugobaganya abantau ku ttaka.

Abaserikale abaakwatibwa kuliko; SP Wilber Ostin Wanyama eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Wamala, ASP Daniel Owellano eyali omuduumizi wa poliisi e Kassanda, ASP Peter Beitera eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango e Kassanda ne Sgt. Azale eyali avunaanyizibwa ku kifo we batereka fayiro za poliisi.

Bano okukwatibwa, kyaddirira okukwatibwa kwa Abid nga April 9, 2020 ku bigambibwa nti, yatulugunya abantu basajja be ne basobya ne ku bakazi n'okwonoona ebintu by'abatuuze ng'abagobaganya ku ttaka e Kassanda.

Ensonda ennekusifu ku poliisi e Kibuli zaategeezezza nti, Obwona abadde nga taata eri abaserikale abasinga obungi era ababadde bakola naye bagamba nti baanyoleddwa nnyo olw'ebigenda mu maaso ku mukama waabwe.

Enanga yagambye nti, bwe wanabaawo ebipya ku kunoonyereza okugenda mu maaso, bajja kutegeeza eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...