TOP

Engeri Corona gy'akyusizza enkola y'emirimu

Added 26th May 2020

MU kiseera kino buli muntu amaze okuloza ku bulumi bwa Corona. Ebyenfuna by’amawanga gonna bisannyaladde olwa Corona. Ekyennaku obubonero obuliwo bulaga nti ekizibu kya Corona kikyaliwo okumala ekiseera kiwanvuko.

DR. TOM WASSWA

Corona avuddeko kkampuni nnyingi okuggalawo. Mu kiseera kye kimu waliwo n'enkyukakyuka mu nkola y'emirimu. ‘Kkampuni nnyingi ez'amaanyi kati emirimu bagikolera waka.

Nga Corona tannajja, kkampuni nnyingi zaali mu kayuuguumo nga zikola enkyukakyuka ez'amaanyi omuntu z'ayinza okutwala nga ez'omulundi ogw'okusatu ogw'ekyasa. Enkyukakyuka ezaasooka zaalimu okuggulawo akatale k'ensi yonna kkampuni ne zitunda ebintu nga zeegazaanya awatali kukugirwa.

Okuva kw'ekyo ne tujja tulaba okweyubula ng'ebintu babitundira ku mikutu gya yintaneeti okuli Google, Amazon, Facebook ne Apple, bye baafunzizza mu kigambo GAFA.

Okweyubula okw'omulundi ogwokusatu kuzingiddemu buli muntu. Corona aleese enkyukakyuka ez'amaanyi ezitaalengerwa muntu yenna naddala mu nneeyisa y'abantu gye twalowoozanga nti teyinza kukyusibwa. Enkyukakyuka ey'omulundi ogwokusatu ezze kyokka tewali amanyi ddi lw'erikoma!

Bangi ku bakulira kkampuni kye balina okwebuuza: kkampuni n'ebitongole bye bakolera binaasobola okutuukana n'enkyukakyuka zino? Ekiseera ekyakazigizigi nga kino, amateeka agamu gamenyebwa kubanga ebintu ebimu ebyalabikanga ng'ebizibu ennyo tukizudde kati nti bisoboka.

Ekyokulabirako ekyangu, abantu bagenda bakyusa enneeyisa yaabwe mu ndya naddala nga bagenda beeyongera okukekkereza. Bangi abali mu bibuga bakyusizza ne baddayo okunyweza enkolagana yaabwe ne be baaleka mu byalo gye bazaalibwa. Abamu bazzeeyo ku nneeyisa y'omuntu waabulijjo.

Embeera ng'emaze okudda mu nteeko, kigenda kutwetaagisa okuddamu okwetegereza ebintu bingi.

Ebintu bingi ku bye tubadde tutambulirako kiyinza okubeera ekizibu okubiddako. Enkyukakyuka eno tegudde bugwi naye yajja dda ekizibu nti tubadde tetugiraba.

Mu buli kkampuni ekitongole ky'obwakitunzi kibeera ku mwanjo nnyo mu buli ekikolebwa. Okutaataagana mu bizinensi okuliwo mu kiseera kino kukyeyongera okugenda mu maaso. Ekyetaagisa kati be bakitunzi okukyusa amakubo n'enkola mwe balina okuyita okutuukiriza omulimu gwabwe ogweyongedde okukaluba. Olwo kkampuni ze bakolera zisigale nga zikola amagoba so nga n'omuntu agula afunye ekituufu ekigya mu ssente ze.

Ebibuuzo bibiri ebyebuuzibwa. Ngeri ki ennyangu ey'okutegeeza omuntu ebikwata ku ky'otunda? Ekirala okumanyisa omuguzi nti ekintu ky'ayagala weekiri era ajja kusigala ng'akifuna mu biseera ebiddako.

Dr. Tom Wasswa mukugu mu byenzirukanya y'amakampuni n'okunoonyeza ebyamaguzi akatale. Era y'akulira ekyapa kya Gavumenti ekya Uganda Printing & Publishing Corporation e Ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...