TOP
  • Home
  • Amawulire
  • RDC w'e Kalungu akambuwadde: Alagidde Poliisi n'amagye obutakkiriza buzannyo bw'abavuga ttuleera okwewala Coronavirus

RDC w'e Kalungu akambuwadde: Alagidde Poliisi n'amagye obutakkiriza buzannyo bw'abavuga ttuleera okwewala Coronavirus

Added 27th May 2020

OMUBAKA wa Gavumenti era ssentebe w'akakiiko ka COVID Task Force akalwanyisa ssenyiga omukambwe mu Kalungu Paasita Caleb Tukaikiriza alagidde Poliisi n'amaggye obutakkiriza buzannyo bw'abavuzi ba ttuleera obw'okwefuula ezibafiiriddeko ku makubo ne baziyimiriza ku mabbali g'oluguudo.

Tukaikiriza abalagidde nti ttuleera yonna gye basing'aana esimbye ku mabbali g'oluguudo bagyekalirize nnyo okulaba ng'abagirimu tebabeerako muntu n'omu gwe basisinkana era babalagire beeyongereyo.

Abalagidde nti bwe balemerako nti emmotoka ebafuddeko,wabeerewo abasirikale ababakuumira obuuyi obulala nti kubanga baakizudde nti abattuleera bakozesa amasimu ne basisinkanirawo bamalaaya n'ababagulako amafuta mu bubba.

"Lukaya tuteekwa okukwekaliriza ennyo era ttuleera etakkiriza kuwummulira mu Lukaya park Yard temugikkiriza kuyimirira wantu wonna n'ezifudde temubakkiriza kwetaaya",RDC Tukaikiriza bwe yakaatirizza.

Ebiragiro bino abitegeezezza abakuumaddembe ng'asinziira ku ttuleera egambibwa nti yabadde efiiridde ku kkubo e Lukaya ne basabibwa ebiwandiiko ebiraga nti baakebeddwa ekirwadde kya COVID 19.

Bya Ssennabulya Baagalayina

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muzamir Mutyaba yeegasse ku...

MUZAMIR Mutyaba oluvannyuma lw’okusalwako KCCA FC omwaka oguwedde, yeegasse ku Express FC mu liigi ya babinywera...

atambulira ku muggo. Mu ssaako ku kugulu we baamukubye essasi.

Eyakubiddwa essasi mu by'ok...

OMUKUNZI w’abavubuka mu NRM, Charles Kabagambe akukkulumidde amagye okumukuba amasasi mu kugulu kyokka ne batafaayo...

Pogba ne Zlatan

Pogba awolerezza Zlatan - '...

Ssita wa ManU ono awolerezza Zlatan nti muntumulamu nnyo era si musosoze mu langi ng’abamu bwe bakimuteekako n’ajuliza...

Mourinho ne Klopp

Mourinho tatuuza mumwa! Ala...

Ng'ensiike ya Spurs ne Liverpool ebindabinda, Jose Mourinho alangidde mutendesi munne Jurgen Klopp amalala. ...

Chelsea eby'okwangula esook...

Chelsea 0-0 Wolves Omutendesi Thomas Tuchel yatandise bubi emirimu mu Chelsea bwe baalemaganye 0-0 ne Wolves...