TOP

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Added 28th May 2020

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

EGGULO Musinga yalangiridde nga bwe bagenda okuddamu okukwata ebidduka byonna ku misango gye baali baayimiriza ng'ebiragiro bya Pulezidenti ebiwera emmotoka biyisiddwa mu March w'omwaka guno.

Yannyonyodde nti emisango okuli; okuvugisa ekimama, okuvuga emmotoka eziri mu mbeera embi, abatalina "permit" zibakkiriza kuvuga, okuggyako ezo ezaggwaako mu kiseera kya kalantiini.

Mu kaweefube w'okwanguyiza abantu okutambula obulungi emisana, emisanvu gya poliisi (road blocks) gyonna egibadde ku nguudo gigenda kuggyibwawo. Kyokka gizza kuzzibwawo ku makya n'ekiro okusobola okulondoola abatambula.

Musinga yagambye nti obubenje bubiri bwe bwaguddewo obw'amaanyi ng'akamu kaafiiriddemu omuntu, abantu bwe baabadde badduka obutakwatibwa ssaawa za kafiyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...