TOP

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Added 28th May 2020

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

 Jamil Mukulu

Jamil Mukulu

JAMIL Mukulu, eyali akulira abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF) embeera y'ekkomera e Luzira gye yasibwa etandise okumunyiga n'asaba kkooti enkulu ekkirize yeeyimirirwe.

Mukulu abadde mu kkomera e Luzira okumala emyaka etaano ng'avunaanibwa emisango omuli ogw'okwokya ettendekero lye Kichwamba omwafiira abayizi 80 mu 1998, okwenyigira mu bikolwa by'obuyeekera, egy'obutujju, okutumbula ebikolwa by'obutujju, egy'okubba ng'akozesa ebissi, okutta abapoliisi babiri ku poliisi ye Bugiri mu Busoga, okutta Abasiraamu n'okukola ebikolwa by'obuyeekera mu bitundu bye Kasese.

Mukulu agamba nti oludda oluwaabi lulemeddwa okutambuza omusango gwe era tekimanyiddwa ddi lwe gulitandika okuwulirwa, kwe kusaba bamweyimirire awoze ng'ava waka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...