
Omuzungu De Coasta.
OMUZUNGU enzaalwa ya Portugal, eyeekobaanye ne bazadde b'omuwala ow'emyaka 16 ne bamumuwa amufuule mukyala we oluvannyuma lw'okubasuubiza emmotoka n'ennyumba abakwasizza.Alberto Carlos De Coaster 56, yakwatiddwa ne Joseline Tongwirwe 49, nga ye maama w'omwana, wamu ne Yoram Betambira 56, taata w'omwana nga bombi batuuze b'e Najjeera mu Bulabira zzooni.
Okukwatibwa kiddiridde omwana waabwe omukulu, Denis Mugume omuvuzi wa bboodabooda ku siteegi y'e Najjeera okugenda ku poliisi e Najjeera n'awawaabira Omuzungu olw'okusobya ku mwannyina.
Poliisi olwakutte Omuzungu n'okufuna siteetimenti ku mwana gw'abadde yezza, n'abazadde ne babuuzibwa akana n'akataano. Tongwire, maama w'omuwala agamba nti Carlos abadde kasitoma we ng'amugulako caayi ne muwogo era ng'ebiseera ebisinga abeera ne bawala be ku mulimu.
Ayongerako nti ekiseera kyatuuka De Coaster n'abasaba abapangisize ennyumba ya bisenge bibiri, nabo ne bakkiriza era ne bafuna ennyumba ya mitwalo 550,000/- buli mwezi era mwe babeera naye mu nnyumba emu.

Agamba nti awo baamalawo wiiki emu De Coaster n'asaba okusenguka nti wafunda tasobola kwetaayizaawo nabo kye bakkiriza, n'afuna ennyumba ey'ebisenge 3.
Bwe baawezaayo ennaku bbiri, De Coaster n'abotola ekyama nti ekimukoza ebyo byonna ayagala muwala waabwe Rebecca! Kino kyanneewuunyisa era omwana olwagaana , kwekutugobera ebweru olwo mutabani waffe n'agenda ku poliisi n'awaaba omusango,'' Tongwire, nnyina w'omwana bwe yannyonnyodde.
Kyokka omwana ayogerwako yategeezezza nti kitaawe Byetambira abadde mukwano gwa De Coaster okumala ebbanga era nga n'ekyenkya akigula ku maama we, kubanga asiika muwogo ng'afumbirako ne caayi.
Agamba nti eky'Omuzungu okumusobyako,kyava dda mu nnyumba gye yasooka okubapangisiza ey'ekisenge n'eddiiro, wadde ng'abaana bonna wamu n'abazadde baali basula mu kisenge kimu, naye olwalabanga ng'abazadde beebase, ng'amulumba kyokka abazadde nga beefuula abatawulira.
Ayongerako nti olwadda mu nnyumba ey'ebisenge 3 ne kisukka: Baganda bange baali basula mu kisenge kyabwe, abazadde mu kisenge kyabwe, nze ne bahhamba nsule mu kisenge ky'Omuzungu mbu nteeke omufaliso wansi mu kisenge kye, ye ng'ali ku kitanda. Omulundi ogwasooka, omuzungu yajja ku mufaliso gwange n'ansobyako bwe yamala n'alinnya obuliri bwe ne yeebaka.
Bwe nnagezaako okuloopa eri abazadde, maama yabibuulira taata, ne yeefuula ayombesa Omuzungu kyokka bwe nnaggyayo omufaliso taata n'ahhamba nguzzeeyo mangu!
Lwali lumu ne bahhamba mbu mperekereko Omuzungu e Jinja ng'alina omuntu eyali amuleetedde ssente, kyokka olwatuuka mu kkubo, yantwala ku mazzi n'atandika okwagala okwekubya nange ebifaananyi ku mpaka n'ampa essimu ye ng'anteereddeko ebifaananyi by'obuseegu mbu ndabe. Omuwala bwe yannyonnyodde.
Ye Omuzungu De Coaster yagambye nti baakola endagaano n'abazadde bamuwe muwala waabwe ng'awezezza emyaka 18, abazimbire ennyumba n'okubagulira emmotoka. N'agamba nti mu kiseera kino abadde tanneegattako naye.
Mu ndagaano eyalabiddwaako, eraga abazadde b'omuwala bombi nga bakkiriza okuwaayo muwala waabwe eri omuzungu De Coaster amufumbirwe mu mateeka era n'abasuubiza okubazimbira ennyumba n'okubagulira emmotoka mu myaka ebiri, kyokka ekyewuunyisa, Omuzungu ye yakola ng'omuwandiisi!
Byetambira, taata w'omuwala agamba nti endagaano gye baakola yali ya kumuwa omuwala ng'awezezza emyaka 18. Bano baabagguddeko emisango ku CRB 051/2020 ku poliisi e Kira