TOP

King Michael akaayidde Balaam

Added 28th May 2020

King Michael akaayidde Balaam

OBUTAKKAANYA wakati wa Ssaabavvulu Balaam (ku ddyo) ne King Michael (ku kkono) bwongedde okulinnya enkandaggo! King Michael alabudde okufaafaagana ne Balaam ssinga agenda mu maaso n'okumulemesa okulaba Pulezidenti.

Kyokka Balaam amwanukudde ng'agamba nti amulanga bwemage kubanga ye si mukozi mu ofi isi ya Pulezidenti oba avunaanyizibwa ku kutwala abantu ewa Pulezidenti.

Michael eyabadde aswakidde agamba Balaam teyakoma ku kuyingira mu ssente ze yalina okufuma ewa Pulezidenti wabula akyagenda mu maaso n'okumulemesa okumulaba n'okubakoonaganya ng'abayimbi ba NRM. "Mu Katonda simanyi kye nakola Balaam.

Ankoze ebintu bingi nga nsirise era siri musanyufu gy'ali naye ssinga agenda mu maaso n'okunzibira emikisa gyange egy'okulaba Pulezidenti nange ng'enda kumuggulako olutalo oluzibu.

Bwe nakuba Pulezidenti akaama ku kivvulu kya Catherine Kusasira ekyali ku Serena hotel omwaka oguwedde nga musaba okumusisinkana yang'amba kulaba Kusasira ate nneewuunya engeri Balaam gye yabiyingiramu nga kati agaana abantu abaagala okuntwala ewa Pulezidenti ng'abagamba nti ensonga zange y'azikolako. Nze Balaam simugambangako nti ekizibu kyange kya nte z'agamba nti yansakira okuva ewa Pulezidenti.

Nnina ensonga ez'omuzinzi ze njagala okutegeeza Pulezidenti era musaba andeke bantwale nga naye bw'asobodde okutwala Big Eye, Salvado, Ashburg Katto n'abalala." Wabula Balaam yeewuunyiza ebigambo bya Michael. "Bw'aba nga yakkiriza ente ze nnamuwa n'akwata n'akatambi nga yeebaza Pulezidenti nti obubaka butuuse ate kati ayogera ki?.

Nnali mu lukiiko ne Kusasira n'abalala nga tusisinkanye Pulezidenti ne wabaawo eyagamba Pulezidenti nti King Michael ali bubi, ekivvulu kyamusala ne mu nju mwasula bagenda kumugoba kwe kusaba Michael, Big Eye n'abalala abaali mu mbeera embi bayambibwe era Pulezidenti yalagira bonna baweebwe kyenkanyi.

Yawunzise awa King Michael amagezi nti bw'aba ayagala okulaba pulezidenti asobola okwogera ne Kusasira, Full Figure oba Buchaman abawi b'amagezi aba Pulezidenti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...

Mulindwa

NRM tennakkaanya ku by'okul...

AKAKIIKO ka NRM akafuzi ak’oku ntikko (CEC) kakyalemeddwa okukkaanya ku ngeri gye bagenda okutegakamu okulonda...

Apoo (ku kkono) n’abaana be. Ku ddyo ye Kamuli.

Ssemaka atiisizza okutta mu...

SSEMAKA yeeweredde okutta mukazi we lwa kugaana kuggyamu lubuto lwa balongo. Obutakkanya buno buli wakati wa...