TOP

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Added 28th May 2020

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka Kame Valley Market ak'e Mukono baabuutikiddwa entiisa bwe baasanze munnaabwe, Mambo Mukiibi abadde omuvuzi wa ttakisi ku luguudo lwa Kampala-Jinja nga yafiiridde mu kibanda kya firimu mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri, ng'ateeberezebwa okuba ng'enjala ye yamusse.

Ababadde bamumanyi, okuli Joseph Kizito, baategeezezza ng'omugenzi bw'abadde yaakakomawo okuva mu kyalo oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okubayimiriza okukola.

Abamu baategeezezza nti omugenzi yali yava dda ku ddagala eriweweeza ku siriimu olw'ebyentambula ebyagootaanyizibwa kalantiini. "Embeera ebadde mbi nnyo kubanga maama we mukadde nnyo takyasobola kulima mmere era ekyokulya babadde tebakirina. Kino kyamuwalirizza okudda ku Mmande.

Olwaleero mbadde nneewaddeyo ndabe bwe nnyinza okumuyamba kubanga eggulo nnamulese yeebase ku kabalaza ak'ekizimbe ekimuwano mu Mukono kyokka kimbuuseeko ate okumusanga nga yafiiridde mu kibanda kya firimu," Kizito bwe yagambye.

Abatuuze baasabye abakulembeze okukolera abantu abali ku ddagala enteekateeka enaabayamba okufuna eddagala lyabwe okwewala embeera ng'eno. Ssentebe w'akatale kano, Godfrey Sserunjogi yennyamidde olw'okufa kwa Mukiibi era ne yeewuunya engeri gye yayingidde ekibanda kino n'akifiiramu kyokka nga nabyo byali byaggalwa dda.

Abeebyokwerinda bazze ne bakebera omulambo oluvannyuma ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okugwekebejja kyokka poliisi n'egaana okubaako ky'eyogera ku nsonga eno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...