TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Added 28th May 2020

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

EMIRUNDI MINGI, abazannyi b'omupiira tubasanga ku bisaawe ebyetengeredde nga bw'olaba Namboole, St. Mary's Kitende, e Lugogo, n'ebirala naye wali weebuzizzaako bisaawe ki 'ebyabazaala'?

Jimmy Kirunda yatuvudde ku maaso era bangi ku basoma ebyafaayo bye basinga kwogera ku biki bye yakolera KCC e Lugogo, Cranes e Nakivubo, mpozzi ne Express e Wankuluku n'awalala wangi.

Naye obadde okimanyi nti Kirunda y'omu ku bazannyi ab'omutawaana akasaawe k'e Mulago be kaazaala? Kirunda yafiiridde Bwaise, kiromita ntono nnyo okutuuka e Mulago, ku kisaawe ekyamufuula ssita. Bamusaayimuto abalala mu kitundu kino, abaaliwo mu biseera ebyo, bwe baalaba nga Kirunda avuddemu omuntu, baayongera amaanyi mu kitone kyabwe okukkakkana nga bafuuse bassita.

Tom Lwanga, Magid Musisi, Sam Mugambe, Godfrey Kateregga be bamu ku bassita abaalerwa akasaawe k'e Mulago Akasaawe kano kali Mulago okumpi ne waadi y'abalwadde b'akafuba, okumpi ne waadi y'abalwadde b'amannyo era okumpi n'ebisulo by'abasawo.

Abazannyi b'omupiira okuva mu bitundu by'e Kyebando, Katanga, Kamwokya, Makerere n'ebitundu ebirala ebiriraanyeewo bonna beesanga bagenze ku kasaawe kano.

"Waasookangawo baana bato ne bazannya omupiira gwabwe oluvannyuma ffe abakulu ne tuyingirawo ate bangi ku bato baasigalangawo okulaba abakulu bwe tukikola." Tom Lwanga bwe yategeezaako Bukedde emabegako. Maama wa Lwanga yali nnansi sso nga taata we naye yali ayamba ku basawo mu bintu eby'enjawulo.

Akasaawe kano kalina akakwate ku mupiira gwa Brazil, buli lwe baalabanga Brazil mu World Cup, enkeera baasookanga kugezesa bukodyo bwe baalabye ekola ku ttivvi. "Ffenna twagezesanga obukodyo bwe twalabanga era e Mulago nga bw'oba tomanyi kusiba mupiira na kukuba nnyanda, baakugoberangawo." Omugenzi Kirunda bwe yategeeza Bukedde nga tannafa.

Mu 1969, Kirunda baamuyita mu Cranes era abazannyi bonna abaali bava mu kitundu kino baasanyuka kubanga ‘omwana waabwe' yali afuuse ssita w'eggwanga nga n'ekyasinga okubasanyusa teyabaswaza era bangi abava mu kitundu kino baatandika okulabwawo. "Bwe baayita Kirunda ku ttiimu, buli omu yasanyuka, buli omu yali ayagala kuba nga ye," Martin Mugabi, omu ku bagoberera omupiira mu kitundu ekyo era eyaguzannyako bw'agamba.

Ng'avudde e Mulago, Kirunda yagenda e Naguru era obulamu bwe obusinga yabeeranga mu mayumba agaali mu kitundu kino. "Kirunda ne Lwanga baali mu KCC kyokka baafissanga obudde ne bajja mu ffe abaana abato okutuyigiriza obukodyo obw'enjawulo." Mugabi, eyali abeera e Naguru mu biseera ebyo bwajjukira. Abazannyi okwali; Sam Mugambe be bamu ku baafuna mu kintu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...