TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Added 28th May 2020

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Ensonga z'omugaga Brian white zituuse mu kakiko ka palamenti akedembe ly'obuntu era nga olwaleero ababaka basisinkanye abamu kubalumiriza omugagga okusobola okufuna obwenkanya. 

Bano okubade Maama w'omu ku bawala abagambibwa okutulugunyizibwa Stella Ndawula,Muganda wa Stella Ndawula Esther Ndawula ne Mutanda Vivian agambibwa okukabasanyizibwa be balabiseeko mu kakiko Kano era ne battottolera ababaka ensonga zaabwe. 

Maama w'omuwala Stella Ndawula agamba nti Brian white yatulugunya Muwala we wabula nga tasobola kuvaayo nga buli bwagezaako okuvaayo afuna okutiisibwatiisibwa  wabula kati  ayagala ababaka bamuyambe.

Ye muganda wa Stella agamba nti mugandawe yabagamba nti ali mu mbeera mbi wabula nga tasobola kuvayo olw'okutya okutisibwatisibwa okuvva eri omugaga Brian white.

Ate ye omuwala Mutinda Vivian ategeezeza ababaka nti ebbanga lye bamala nga bakolera Brian white okuva mu 2017 tebasasulwanga Kujako okubawa esente z'enviri n'okwekolako wabula nga ate basiba bakabasanyizibwa omugagga ono nga kw'otadde n'okubakuba...

Vivian agamba nti yava mu somero oluvannyuma lwa senior ey'okuna era nga kitaawe Yaffa nga wabula yali Alina okunonya sente watyo n'atwalibwa okukola wabula nga ebyamutukako yali tabisuubira.

 Omubaka Latif Ssebaggala yeyamye okumuwerera okumalako senior eyomukaga waba nga mwetegefu.

Omubaka era asabye police okuwa obukuumi abajulizi Bano mpaka  bwe banatuuka kumazima kunsonga eno.

Ye omugaga Brian White asuubirwa okulabikako mu kakiko Kano kulwokubiri lwa sabbiiti ejja yenyonyoleko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...