TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Added 29th May 2020

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Kansala we Lwamata Tawuni Kanso ku disitulikiti e Kiboga awadde spiika akaseera akazibu okukkirizisa ba Kansala banne okuyisa bajeti ya disitulikiti ey'omwaka 2020/2021.
 
Olukiiko lwa kanso lwatudde ku disitulikiti ku ssaawa munaana ez'olweggulo.
Olukiiko lwasoose na Sipiika Sipiika kulaga kutya kwebalina ku muntu omu gwebatebereza okubeera nobulwadde bwa Ssenyiga omukambwe eyavudde e Tanzania nayitira ku nsalo e Mutukula neyewogoma e Bugago e Kiboga kyoka ngakyali mu kalantiini.
 
Oluvanyuma omumyuka wa disitikiti Noah Kibwami yasomye bajeti ya buwumbi 26,310,685,000.Mu bwangu ddala nga bajeti esomeddwa Kansala wa Lwamata Tawuni Kanso yayimuse nalaga okwemulugunya ku bajeti eyasomeddwa nga bweyakyuuse okusinziira ku biteeso byebakkanyaako nga ba Kansala.Yagambye nti baali baasaba Gavumenti  sente z'enguudo nazo zongerweeko nekitakolebwa.

Kyoka Sipiika yajjemuludde ekiteeso kya kansala ono eyabadde atandise okuwakanya ne bbugumu namutegeeza nti ba Kansala balina okwebuuza ku bakulira obukiiko obwenjawuli nebakkiriziganya nabo kubibeera biteeseddwa nga tebanatuula mu Kanso.Kyabatwalidde eddakiika eziwera okukkaanya kyoka oluvanyuma bakkanyizza bajeti neyisibwa.

 
Ebyenjigiriza byebyasinze okuweebwa sente enyingi obuwumbi 10,412,821,000, nekiddirirwa ekitongole ky'ebyobulamu obuwumbi 6,009,619,000, nekiddirirwa ekitongole ekirimu abakozi ba Gavumenti n'obuwumbi 4,301,143,000.enguudo nebyobulimi baafunye akawumbi kamu nezigwaamu ate ebitongole ebirala nebifuna bukadde.
 
Akulira abakozi Hajat Sarah Nakalungi Kanso olwawedde nasaba bannamawulire okumuyambako okumanyisa abantu ku bulwadde obupya obwabaluseewo e Kiboga obwa Cremean Congo Fever obuletebwa abantu abenjawulo abava e Congo ne Rwanda nga bwefananyirizaako Ebola ne maburg.
 
Yagambye nti abantu bana bebabadde bakalumbibwa obulwadde buno babiri nebafa ate abalala bali ku bitanda.
 
Obubonero kwolabira obulwadde buno kuliko okuvaamu omusaayi mu bitundu byomubiri,amaaso okumyuuka,okusesema,kyoka nti okwawukanako ne Covid buno bukwata mangu nnyo nalabula abantu okubeera abayonjo,okukozesa gloves nokwewala okukwata abantu mu ngalo.

 

 
Yasabye Gavumenti okubongera ku sente zenguudo ezasaliddwako ku lwobulungi bwokuddukanya emirimu gya disitulikiti.
 
RDC ye yagambye nti ekitongole kye kikoze omulimu munene okukendeeza ku bumenyi bwamatteeka nagamba nti omuwendo gwabantu abazza emisango mutino ddala.Yalabudde buli maka okussaawo amazzi ne ssabuuni anaaba engalo mu kaweefube Gavumenyi gwaliko owokulwanyisa obulwadde bwa Senyiga.
 
Sentebe wa disitulikiti ye Kiboga Israel Yiga yasabye Gavumenti okubafunira road Unit eyokubiri abakulembeze basobole okwanguyirwa emirimu.
 
Ku sente ezissibwa mu bajeti ye ggwanga nga zababaka ba palamenti ezokwejalabya ngokutambula okuwummulako nokubaako byebannonyerezaako yagambye nti ezo zandisiddwa ku bintu ebirala ng'amakkubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...

Mulindwa

NRM tennakkaanya ku by'okul...

AKAKIIKO ka NRM akafuzi ak’oku ntikko (CEC) kakyalemeddwa okukkaanya ku ngeri gye bagenda okutegakamu okulonda...

Apoo (ku kkono) n’abaana be. Ku ddyo ye Kamuli.

Ssemaka atiisizza okutta mu...

SSEMAKA yeeweredde okutta mukazi we lwa kugaana kuggyamu lubuto lwa balongo. Obutakkanya buno buli wakati wa...

Mmotoka ya Poliisi ebadde e...

Bino bibaddewo ku ssaawa ssatu ez'okumakya ga leero ku Lwokutaano e Kabowa we bayita ku katale ka Kidomoole ku...