TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Taata agobezza abakungubazi omulambo nga yeekwasa amawano

Taata agobezza abakungubazi omulambo nga yeekwasa amawano

Added 1st June 2020

Taata agobezza abakungubazi omulambo nga yeekwasa amawano

BYA MARIA NAKYEYUNE

Abatuuze ku kyaalo Kabundi mu ggombolola y'eMateete mu Disitulikiti y'eSembabule basanze akaseera akazibu okuziika munnaabwe Kasiita Kennedy Omusuubuzi mu kitundu kino eyafudde ekikutuko olunaku lweggulo ng'oluleese omulambo ewa kitaawe n'agubagobesa nti yamuzaalukuka dda olw'okuwasa omukyala eyeddira omuziro gwe gumu "Empologoma" ne nnazaala we era n'alagira nti tagenda kuziikibwa ku kiggya kyabwe.

Ssentebe w'ekyalo kino Joseph Kawooya ategeezezza nti ensonga zino baazituulamu ng'akakiiko ne babakkaanyisa ne kitaawe kyokka ne bigaana nga baali baasalawo ensonga zidde mu kika kyabwe wabula kibakubye encukwe okulaba ng'omuvubuka ono afudde tezinnagonjoolwa.

Wabula abatuuze oluvannyuma baakozesezza ekifuba ne baleeta omulambo mu maka gano ne bakola enteekateeka z'okuziika era omugenzi yaziikiddwa akawungeezi ku Ssande ku saawa mukaaga nga n'abatuuze beeyiye mu bungi ku ntaana awatali kwewa mabanga ng'emu ku ngeri y'okulwanyisa ekirwadde kya COVID 19.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...