TOP

Omusuubuzi w'omu Kampala aseeredde n'agwa n'afa

Added 1st June 2020

OMUSUUBUZI w’omu Kampala omututumufu asirittuse nga yaakatuuka mu maka ge agasangibwa e Najjeera, mu Munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso n’afa!

Bya Stuart Yiga

OMUSUUBUZI  w'omu Kampala omututumufu asirittuse nga yaakatuuka mu maka ge agasangibwa e Najjeera, mu Munisipaali y'e Kira mu disitulikiti y'e Wakiso n'afa!

Omu ku  b'Oluganda lw'omugenzi ayitibwa Dickson Nsiime, yategeezezza Bukedde, eggulo nti Sheila Namanya, yagudde ku Ssande ku saawa emu eyakawungeezi ne bamuddusa mu ddwaliro ly'e Nakasero okujjanjabibwa kyokka oluvannyuma n'afa nga bukya ku Ssande.

Namanya, abadde n'amaduuka agatunda ebizigo ku luguudo lwa Kampala ne ku kizimbe kya Galiraaya, ku luguudo lwa William.

"Nakati tukyebuuza engeri  mwanyinaffe gye yagguddemu n'atuuka okufa nga talwadde nti oba tumujjanjabeko," Nsiime, bwe yategeezezza.

Omugenzi w'afiiridde ng'alina omugogo gw'Abalongo abalenzi gumu n'omulenzi omuto, omugatte be baana basatu.

 Omugenzi aziikibwa leero ku Lwokubiri ku bijja gya ba jjajaabe e Kasana-Kitagata, mu disitulikiti y'e Sheema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...