TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabani wa Nabbi Kakande aziikiddwa nnamungi w'omuntu ekikontana n'amateeka ga COVID19

Mutabani wa Nabbi Kakande aziikiddwa nnamungi w'omuntu ekikontana n'amateeka ga COVID19

Added 1st June 2020

OMUBUULIZI Mugoda asabye abantu okukomya okukudaalira abafu nga beefuula abanyoleddwa ku nkugulu nga munda basanyufu .

OMUBUULIZI  Mugoda asabye abantu okukomya okukudaalira abafu nga beefuula abanyoleddwa ku nkugulu nga munda basanyufu .

Joshua Mugoda omubuulizi mu kkanisa ya All Saints Manyangwa yasinzidde mu kuziika omusirikale wa UPDF Maj. Daniel Kagimu Kasujja (56) omutuuze wa Manyangwa A nga mutabani  wa Nabbi Kakadde ow'ekkanisa ya Synagogue esangibwa ku nkulungo y'oku Bbiri.

Mugoda mu kubuulira kwe yagambye nti waliwo abantu abakaabira abafu  mu ngeri y'okubakudaalira kye yagambye nti kiba kikyamu  n'a'asaba  abantu okukomya okukulembeza eby'obugagga  ne batuuka okufa nga si bakkiriza.

Christine Rebecca  Luwedde mwannyina w'omugenzi yagambye nti bataata baaluganda ne Nabbi Kakadde  nga Maj Kasujja yayingira amagye mu 1995 n'agawummula omwaka oguwedde.

Nabbi Kakadde teyaziise mutabani  we aba famire ne bagamba nti si yasoose azze taziika kyokka nga naye bamuziika ku kiggya ky'ekimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...