TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bajeti ya 2020/2021 erinnyisizza omusolo ku mafuta

Bajeti ya 2020/2021 erinnyisizza omusolo ku mafuta

Added 12th June 2020

BAJETI y’eggwanga ey'omwaka 2020/2021 eyasomeddwa minisita w’Ebyensimbi, Matia Kasaija ku Lwokuna, eriko emisolo gye yalinnyisizza okusobola okwongera ku nnyingiza ya Gavumenti.

Ebisale by’entambula mu takisi ne bodaboda bisuubirwa okulinnya.

Ebisale by’entambula mu takisi ne bodaboda bisuubirwa okulinnya.






Wadde nga Gavumenti yali eyagala okulinnyisa n'okuleeta emisolo emipya, waliwo egyagaanibwa Palamenti ng'ababaka bagamba nti gigenda kunyigiriza nnyo omuntu wa wansi.

Palamenti bwe yali eyisa bajeti nga April 24, okulinnyisa emisolo ku bintu nga bbiya, amafuta g'ettaala ne ku byobulimi kwagaanibwa.

Kyokka ate waliwo emisolo gye bakkiriza okulinnya, mu kaweefube w'okugaziya ebyenfuna by'eggwanga nga omusolo okuva ku mafuta g'ebidduka (petulooli ne dizero).

Liita y'amafuta ga petulooli ebadde eggyibwako omusolo gwa 1,200/- yalinnyisiddwa okutuuka ku1,350/-. Dizero abadde eggyibwako 880/- buli liita egenda kuggyibwako 1,030/- era kino kitegeeza nti ebisale by'entambula byandirinnya.

Wadde nga Gavumenti yali eyagala okulinnyisa omusolo okuva ku mafuta ga tadooba nga buli liita egyongeramu 100/-, kyokka ababaka baakigaana nga bagamba kyakunyigiriza bamufunampola. Liita y'amafuta mu kiseera kino eggyibwako 200/- nga zino Gavumenti ze yali eyagala okufuula 300/-.

EMISOLO EGIKENDEDDE

Ababaka baawakanya ekyokwongeza omusolo ku mwenge n'ebyokunywa ebiweweevu ebikolebwa mu bintu ebiva mu ggwanga, nga wine n'ebirala.

Omusolo okuva ku mwenge (wines) ogukolebwa mu bintu ebiva mu ggwanga baagusizza okuva ku 2,000/- okutuuka ku 1,500/- buli liita.

Omusolo ku "juyisi" akolebwa mu bintu ebikolebwa mu ggwanga gwakendeezeddwa okuva ku 300/- okutuuka ku 250/-.

Ababaka baategeeza nti omusolo ku bbiya bwe gulinnya ennyo kijja kuleetera abantu okwesonyiwa omwenge ate Gavumenti efundikire nga tekyafuna musolo gw'erina okusoloozaako.

Omusolo ku ssigala ogwali guleeteddwa nga gulinnyisiddwa okuva ku 55,000/- okutuuka ku 75,000/- ku buli minwe 1,000 kyagobebwa.

Ababaka baalina okutya nti omusolo ku ssigala bwe gunaalinnya ab'amakolero bajja kusala bbeeyi ya ttaaba ate kikose omulimi wa wansi amulima. Kyokka era Gavumenti yalangiridde enteekateeka y'okusonyiwa emisolo ku bitongole ebimu ebikoseddwa ennyo olw'obulwadde bwa Corona.

Amakampuni agakwatagana n'obulambuzi n'okusuza abantu ge gamu ku gagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno. Kyokka waliwo n'amalala agajja okuganyulwa nga gajjibwako omusolo oguwoozebwa ku magoba okumala ekiseera n'oluvannyuma balizisasula nga bateredde.

Wadde ng'emisolo gyayisibwa, wasuubirwa okubaamu enkyukakyuka ezisobola okukolebwa Gavumenti wakati mu mwaka gw'ebyensimbi 2020/2021 nga kisiinzira ku ngeri eggwanga gye linaaba likoseddwaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...