TOP

Uganda erina w'etuuse ku kunoonyereza ku 'Coronavirus'

Added 15th June 2020

Polof. Kaleebu agamba nti omulimu gw’okukebera bagukoledde ddala bulungi nga mu buvanjuba bwa Afirika Uganda y’ekyasinze okukebera abantu abangi.

Polof. Kaleeb

Polof. Kaleeb

BYA RUTH NAZZIWA

Polof.   Pontiano Kaleebu akulira ekitongole kya Uganda Virus Research Institute nga kino kati kye kinoonyereza ku ssennyiga omukambwe  era ng'ali ku kakiiko ka bannasaayansi abawabuzi (scientific advisory committee) aka Minisitule y'ebyobulamu ku nsonga ezikwata ku bulwadde bwa bwa ssennyiga omukambwe, coronavirus agamba nti  kubanga obulwadde buno bupya, bassaawo enteekateeka esobozesa okukategeera n'okukasoma okumanya enfaanana yaako ne bwe keeyisa .

Obuwanguzi bwe tutuuseko ;

Polof.  Kaleebu agamba nti omulimu gw'okukebera bagukoledde ddala bulungi nga mu buvanjuba bwa Afirika Uganda y'ekyasinze okukebera abantu abangi.

"Ffe aba UVRI, ffe twasoose okulaga  ekikula ky'akawuka kano aka" coronavirus".

Mu kiseera kino, ebintu bibiri bye tulina okunyweza okuli okufuna eddagala erijjanjaba n'okugema obulwadde buno era nnina essanyu lingi okubategeeza nti we njogerera , tuli mu nteekateeka yaakulaba nga twenyigira mu kunoonyereza ku ddagala erigema obulwadde bwa ssennyiga omukambwe.

Mu ngeri y'emu, twetaaga okwongera amaanyi mu bikozesebwa mu kukebera obulwadde buno kubanga mu budde buno, bye tukozesa bya ssente nnyingi ate ng'ate tebibunye buli wamu. Twetaaga okufuna obuuma obukozesebwa mu kukebera obutali bwa ssente nnyingi bubune wonna naddala okulaba nga tunyweza ku nsalo kubanga we wakyasinze okuva abayingira mu ggwanga nga balina obulwadde buno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joel Ssennyonyi ne Nsereko nga bajaganya.

Abakugu balaze ebyasudde NR...

ABA NRM bakyatakula mitwe ku byavudde mu kalulu mu Buganda ne Busoga. Guno gwe gwabadde omulundi ogusooka, Pulezidenti...

Ekibanda ekyasaanyeewo. Ku kkono ye Nakawuka omu ku baafiiriddwa ebintu.

Omuliro gusaanyizzaawo ebba...

Bya PONSIANO NSIMBI ABATUUZE bawaliriziddwa okutema ppayipu y'amazzi eya National Water okuzikiriza omuliro...

Ssekajja.

'Gavt. esembeze ab'oludda o...

ABAKYALA okuva mu mawanga ag'enjawulo ku lukalu lwa Afrika abaalondodde okulonda akalulu k'obwapulezidenti basabye...

Ebigenda okukozesebwa mu kulonda bassentebe ba disitulikiti nga byakatuusibwa ku kitebe ky’ebyokulonda e Wakiso.

Ebinaakozesebwa okulonda ba...

AB’EBYOKULONDA mu Wakiso bafunye ebigenda okukozesebwa mu kulonda bassentebe ba disitulikiti olw’okubaawo enkya...

Enanga ng’aliko by’ayogera ne Brig. Byekwaso ku kitebe kya poliisi e Naggulu ku Mmande. Ku kkono ye Frank Baine omwogezi w’ekitongole ky’amakomera.

EMBEERA BWE YABADDE MU KULONDA

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti poliisi yafunye emisango 174 egyekuusa ku by’okulonda...