TOP

Enkwata y'amakungula kye kimu ku bisinga okufiiriza abalimi

Added 15th June 2020

ENKWATA y’amakungula kimu ku bisinga okufiiriza abalimu mu Uganda olw’ebyamaguzi ebimu ebituusibwa mu katale ng’omutindo guli wansi.Solomon Ssennoga omulimi era omusuubuzi wa muwogo, ku kyalo Kikyusa mu disitulikiti y'e Luweero, agamba nti omulimi yenna okufuna mu mulimu gw'akola asaanira okussa essira ku kwongera omutindo ku birime bye afune ekiwera

Ssennoga alima muwogo ekika kya NAROCASS1, kye yaggya mu NARO era mu kifo ky'oktunda omubisi asooka kumukaza n'atunda obuwunga n'ebibajjo ebikaze ky'agamba nti kimuyambye okufuna ekiwera.

Okugattako omutindo

"Nnina edduuka mu Kampala ng'eno gye ntundira muwogo wange. Ntunda ebibajjo nga kkiro eri wakati wa 500/- ne 600/- wabula ng'enkuba bw'etandika okutonnyab beeyi  erinnyamu", bw'agamba.

Ng'oggyeeko okuwaata muwogo n'amusala ebibajjo by'ayanika, Ssennoga yagula akuuma akamunyiga  n'afuluma mu butundu obutono ddala. Akuuma kano kakozesa mafuta ga dizero.

"Muwogo ono akala mangu ng'omusana omulungi gumu gwokka gumumala. Kino kyongera ku mutindo gw'akawunga akamuvaamu kuba oluusi ekigutta  kwe kulwawo ng'oyanika n'atuuka okugwamu ettaka n'alumira. Olw'omutindo omulungi, obuwunga obuvaamu abakola emigaati ne kkeeke b bwettanira nnyo", Ssennoga bw'agamba.

OKULIMA MUWOGO

Annyonnyoola nti ayagala okutandika okulima muwogo, kikwetaagisa okubeera n'ettaka okusookera ddala n'okubaawo ne kapito wa ssnte z'okukabala, okugula emiti n'okusasula abakozi era ettaka kakas anti likabaddwa bulungi nga singa osobola kozesa tulakita kuba muwogo ono okulannaba obulungi, yetaaga ettaka eggonvu.

Okusinziira ku Ssennoga, muwogo ono akulira mu mwaka gumu era nga mu yiika mugendamu ensawo z'emiti munaana egitemebwa mu buwanvu bwa fuuti emu nga muno muvaamu ebikolo 2,200 ne 2,500 nga tusimba amabanga ga fuuti 3X3 era nga buli kinnya mugendamu omuti ogwa buli sayizi.

"Omunwe gubeera wakati wa fuuti emu n'ekitundu ku bbiri olwo ennimiro yonna ebeera ejudde muwogo n'obeera ngofuna ekisingawo", Ssennoga bw'agamba.

‘'Nze muwogo ntandika okumufunamu ku myezi mukaaga nga mmutemako emiti gy'entunda 15,000/- buli nsawo nga mu yiika nsobola okutemamu ensawo 150 ate mu lutema olw'okubiri ne nzijamu ensawo nga 250 ate nga ne muwogo wansi ebeera akyali mulamu bulungi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...