TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ddereeva wa ttuleera asirittuse ennume y'ekigwo n'afiirawo abatuuze ne basattira

Ddereeva wa ttuleera asirittuse ennume y'ekigwo n'afiirawo abatuuze ne basattira

Added 16th June 2020

ABASAWO abajjanjaba Corona okuva ku ddwaaliro e Tororo bayitiddwa bunnambiro okujja okwekebejja omulambo gw’omugoba wa lukululana eyafiiridde mu kibira e Busitema we bakeberera ttuleera eziva e Kenya.

Omusawo nga yeekebejja eyagudde.

Omusawo nga yeekebejja eyagudde.

Bya FAISAL KIZZA






Eyafudde abadde avuga lukululana nnamba KAT 578T eyabadde eva e Uganda ng'edda Kenya okuyita ku nsalo y'e Malaba.

Omugoba ono ataategeerese mannya abaamulabyeko baategeezezza nti olwatuuse e Busitema we beekejjera lukululana yasimbye eyiye n'avaamu n'omukeeka nga kigambibwa yabadde agenda kusaala.

Ddereeva munne ye yamulabye ng'agwa wansi kyokka okugenda okwetegereza ng'afudde. Eyamulabye yategeezezza abaserikale ne bagaana abantu okumusemberera nga bagamba nti kyandiba ng'afudde Corona era kwe kuyita abasawo kuva e Tororo abeekebezze omulambo oluvannyuma ne guteekebwa mu ambulensi ne bagutwala mu ddwaaliro e Tororo.

Baddereeva baategeezezza Bukedde nti ekiragiro kye baabateekako okutambulira mu lukululana kizibu kubanga bw'ofuna obuzibu tewali vasoboa kukuyamba.

Yagambye nti omugenzi ayinza okuba nga yeewalirizza okuvuga ate nga mulwadde kwe kufuna obuzibu obwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...