TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine ne Besigye beegasse: Bakkaanyizza okukolera awamu

Bobi Wine ne Besigye beegasse: Bakkaanyizza okukolera awamu

Added 16th June 2020

BOBI Wine ne Besigye okukkaanya okukolera awamu, kireese ebbugumu mu People Power ne mu FDC ng’enkambi zombi zeetegekera akalulu ka 2021.

Besigye ng'ayogera (owookubiri ku kkono ye Bobi Wine)

Besigye ng'ayogera (owookubiri ku kkono ye Bobi Wine)Wabula mu bawagizi ba People Power ekulemberwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) wamu n'abawagizi ba FDC abateekateeka okusimbawo Dr. Kizza Besigye mu kalulu akajja, kumpi bonna baasigadde beebuuza ani asinga okufuna mu ntegeeragana eyatuukiddwaako.

Kino abawagizi bakitadde ku mwanjo nnyo kubanga ku Bobi Wine ne Besigye, anaasinga okuganyulwa mu kukolera awamu, asuubirwa okubeera n'enkizo mu kusalawo anaakwata bendera y'oludda oluvuganya gavumenti mu kalulu k'Obwapulezidenti ak'omwaka ogujja.

Ensisinkano eyabaddewo eggulo yatunuuliddwa ng'ebibala ebyavudde mu lukiiko Bobi Wine lwe yalina ne Besigye e Kasangati nga May 20, 2020 era ku mulundi ogwo baatuula mu maka ga Besigye ne bakkaanya okukolera awamu mu kuvuganya gavumenti.

Eggulo, Besigye ne Bobi Wine wamu n'abooludda oluvuganya gavumenti okuli JEEMA ne CP lwe baayanjudde entegeka empya gye baatuumye "United Forces for Change" (ekitegeeza amaanyi ageegasse awamu okuleeta enkyukakyuka) ne batongoza kampeyini gye baatuumye "No, Nedda".

EBYABADDE EMABEGA W'OKUTEGEKA OLUKIIKO

Mu kutegeka ensisinkano eyabaddewo eggulo omwajjidde n'abakulembeze mu bibiina ebirala ebivuganya gavumenti, aba FDC kigambibwa nti baazannye ekifo kya ku mwanjo era ensonda zaategeezezza nti be baawomye omutwe mu kuyita abakulembeze b'ebibiina ebirala abeetabye mu lukung'aana lwa bammawulire, poliisi lwe yabadde egezaako n'okusazaamu ku ssaawa esembayo.

Ensonda zaategeezezza nti kino kyekimu ku byagaanye ab'ekibiina kya Mugisha Muntu okwetaba mu nsisinkano eno kubanga baagirabye ng'eyamba Besigye okumukomyawo mu bibalo by'okwesimbawo ku Bwapulezidenti nga y'akwatidde ab'oludda oluvuganya gavumenti bendera.

Kyasaliddwaawo bafune ekifo ekitaliiko kyekubiira (neutral ground) era ne bakkaanya okusisinkana ku Flora Hotel e Wakiso era kino kyayanguyidde enjuyi zombi kubanga ekifo tekyabadde kya kupangisa ate nga nnyini kyo naye munnabyabufuzi atasobola kuwalirizibwa kusazaamu nteekateeka ya kussaawo lukiiko lwa bannabyabufuzi.

Ekifo kino kya mubaka wa Palamenti owa DP Florence Namayanja (Bukoto East, Masaka) era eky'okuba nga y'omu ku bakwanaganya emirimu gya People Power kyawadde aba Bobi Wine amaanyi okwegazaanya ku mukolo gw'eggulo.

Wabula ensonda zaategeezezza nti ekifo we baasisinkanye kyakosezzaamu ebigendererwa kubanga kyalemesezza aba DP nga bakulemberwa Norbert Mao n'omumyuka we Fred Mukasa Mbidde kubanga bali kabwa na ngo ne Namayanja, oluvannyuma lw'omukyala ono okuwagira ekiwayi kya DP ekiwakanya obukulembeze bwa Mao.

Ekirala, ab'ekiwayi ekiwakanya Mao okuli Muwanga Kivumbi, Sulaiman Kidandala n'abalala be baabadde ku mwanjo mu nteekateeka, ekintu Mao kye yalabye ng'ekijja okumukola obubi.

Ekirala Mao asangiddwa nga takyakwatagana bulungi na ba People Power era nga yalangirira dda nga bw'ayagala okuvuganya ku Bwapulezidenti bwa Uganda ku kkaadi ya DP.

ANI AFUNA MU NTEGEERAGANA

Kigambibwa nti waabaddewo okwebuuza mu nkambi zombie nga tebannasalawo kutuuka ku nkolagana ya Besigye ne Bobi Wine.

Ensonda mu People Power zaategeezezza nti mu kukubaganya ebirowoozo, abasing obungi baawagidde enkolagana ne Besigye nga bagamba nti nga Corona tannasannyalaza ggwanga baali tebalabawo bwetaavu bwa kutuuka ku ntegeeragana eno kubanga amaanyi gaali gajja kweraga mu nkung'aana za kampeyini, Besigye awanduke yekka.

Kyokka olw'embeera eriwo n'ob-ubonero obwoleka nti akalulu kayinza okute-gekebwa nga tekaliiko kukuba nku-ng'aana, okugatta amaanyi bakifunamu nga baganyulwa mu mirandira FDC gy'ezimbye mu myaka 15 okutuukira ddala ku byalo kw'ossa bakakuyege Besigye b'azze azimba mu myaka kumpi 20 gy'amaze ng'avuganya Pulezidenti Museveni.

Kigambibwa nti aba People Power baasazeewo okuyingira mu ntegeeragana n'ekigendererwa ky'okulaga nti Bobi Wine y'asinza emikisa egitagaza NRM mu kalulu ka 2021.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...