TOP

Munnayuganda afiiridde mu ntiisa mu America

Added 16th June 2020

MUNNAYUGANDA Esther Nakajjigo afudde mu ntiisa mu America omuyaga ogwamaanyi bwe gukubye ggeeti y’ekizimbe kw'abadde ava okugula ebintu ne gumuttirawo.

Omugenzi Esther Nakajjigo

Omugenzi Esther Nakajjigo

BYA MARGRET ZALWANGO








 

Nakajjigo 25 muwala wa John Kateregga ne Christine Namagembe abatuuze mu Kasule Zooni Nsambya e Kansanga ng'abadde abeera mu ssaza lya Corolado mu America ng'abadde yagenda kusoma ddaala lya "masters".

Kitaawe w'omugenzi, Kateregga yategezezza nti yasemba okuwuliza muwala we nga June 12, kyokka yaddamu okumukubira essimu nga tagikwata era ekyaddiridde kufuna mawulire g'okufa kwa muwala nti yabadde akubiddwa ggeeti.

Nakajjigo abadde akola mirimu gya bwannakyewa ng'alwanirira eddembe ly'abaana abawala naddala abatuusibwako obuliisa maanyi saako abo abayita mu kutulugunyizibwa okwamaanyi era emirimu gye abadde asinga kugikolera mu bizinga ssaako mu nkambi z'abundabunda.

Omugenzi Esther Nakajjigo

Ono  y'omu ku baawangula empaka z'okukulaakulanya abakozi ezitegekebwa Vision Group eza "Pakasa" omwaka oguwedde ng'abadde alina pulogulaamu ekyusa obulamu bw'abaana abawala n'abavubuka ku Urban Tv eyitibwa "who can do it as ESSIE" ebadde ebeerayo buli lwa Ssande.

Nakajjigo yafudde nga June 14 mu kibuga Altar gye yabadde agenze ne banne babiri okugula ebintu. Baaabadde baakafuluma ssemaduuka soma 'Mall' omuyaga ogwamaanyi we gwajjidde ne gukuba ggeeti y'ekifo olwo n'egwiira mmotoka mwebabadde era Nakajjigo yafiiriddewo n'emukwano gwe omu ate omulala owookusatu gwe baabadde naye yatwaliddwa mu ddwaliro ng'ali mu mbeera mbi.

Omulambo gwa Nakajjigo gwatwaliddwa omuyaga kyokka oluvannyuma gwazuuliddwa wabula mu kiseera kino aba famire baategeezezza nti akuumirwa mu ddwaliro lya Deniva mu America kyokka nga bakyasobeddwa engeri y'okumukomyawo mu Uganda aziikibwe.

Esther Nakajjigo lwe yawa ngula engule ya New Vision eya Pakasa

Ssentebe w'ekyalo Kasule Zooni omugezi gy'azaalibwa Abas Kalema yategeezezza nti omwana ono abadde afubye okulaga ensi nti omuntu azaaliddwa mu bifo by'enzigota ebimanyiddwa nga "ghetto" basobola okubaako kyebakola okukyusa ensi.

Balajaanidde gavumenti okubayambako okulaba ng'omubiri gwa Nakajjigo gukomezebwawo mu Uganda aziikibwe..

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

maka ga ba Shimanya. Mu katono, ye Shimanya ne Kakai gwe yasse

Ow'ebbuba asse mukazi we ng...

OMUSAWO w'eddwaaliro lya IHK yakomyewo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro era yasanze bba yatabuse dda! Bba yayongedde okuva...

Pulezidenti  wa DP Nobert Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Ebizibu mu DP byeyongedde: ...

EBIZIBU byeyongedde mu DP, ekisanja kya Nobert Mao bwe kiweddeko wakati mu kuwakanyizibwa abamu ku bammemba okuli...

Erias Lukwago kisuubirwa ayinza okukwatira FDC enkasi singa Besigye tggyaayo mpapula kwewandiisa kuvuganya

Abaagala bendera ya FDC ku ...

ABA FDC bataddewo olwaleero n’enkya ku Lwokubiri nga nsalessale eri abaagala okukwatira ekibiina bendera ku kifo...

Brig. Flavia Byekwaso nga bamwambaza ennyota mu February 2019 e Mbuya.

By'obadde tomanyi ku Brig. ...

Okulondebwa kwa Brig. Byekwaso kumufudde omu ku bakazi abasinga amaanyi mu UPDF. Y’omu ku babaka 10 abakiikirira...

Enkyukakyuka mu UPDF kye zi...

Enkyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti Museveni mu magye zirimu ebikulu ebitabuusibwa maaso. Alonze omukazi asoose...