TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba People Power bavuddeyo ku by'okwegatta ne bye basuubira

Aba People Power bavuddeyo ku by'okwegatta ne bye basuubira

Added 17th June 2020

ABA People Power bagambye nti beetegefu okwerekereza byonna ku lw'obulungi bw’okwegatta n’okutwala obukulembeze mu 2021 kyokka eky'omuntu waabwe Kyagulanyi okulekera Dr. Kiza Besigye ekyo tekijja kusoboka.

Bobi Wine

Bobi Wine


Bino biddiridde Besigye ne Bobi Wine okulangira bwe baagasse ne banjula enkolagana empya gye baayise 'United Forces of Change' ekitegeeza amaanyi ageegasse awamu okuleetawo enkyukakyuka wansi w'ehhombo gye batuumye 'No Nedda'.

Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enteekateeka eno n'agamba nti okwegatta kuno kugenda kubaamu enjuyi zonna okubaako bye zeerekereza ku lw'obulungi bw'okwegatta.

Kino abamu ku bawagizi ba People Power baakitutte ng'okutegeeza nti aba FDC baagala kuzannya Bobi Wine buzannyo okukomyawo Dr. Kizza Besigye okukwatira ebibiina eby'oludda oluvuganya bendera mu kalulu aka 2021.

Omubaka Medard Lubega Sseggona Kalyamaggwa ( Busiro East) yagambye nti Bobi ne Besigye okwegatta kabonero kalungi era kino Bannayuganda bangi babadde bakiyayaanira wabula ku ky'obukulembeze bw'eggwanga mu kiseera kino, Bobi Wine yaaliko.

Francis Butebi Zaake( Mitaya Minisipality) Nze nga zaake abawagizi benkyukakyuka mbasuubiza ekintu kimu kuguma kuba mu kisenge we twabadde nga tulangirira okwegatta waabaddewo omuntu omu yekka eyalangirira edda nga bw'agenda okuvuganya ku bwapulezidenti bw'e-ggwanga lino era ffe tusuubira kimu kufuna buwagizi n'okugenda mu maaso.

Naye nga tukyatuula era tugenda kuteesa ku bintu bingi eby'o-mugaso ebituyamba ate nga biyamba ne Bannayuganda kuba be bamu kubasinga okutukkiririzaamu. Tetwagala kukola kusalawo ate balabe nga be tuliddemu olukwe.

Moses Bigirwa yagambye Bobi Wine asensedde nnyo mu mitima gy'abantu.

Yagambye nti eky'ani agenda okusuuza Museveni entebe, abantu bakkaanya dda nti ye Bobi Wine ssi Besigye Fred Nyanzi, okwegatta okwakoleddwa tekulina kye kugenda kukyusa mu nteekateeka zaffe ze tulina kuba twasaawo dda akakiiko k'ebyokulonda akasunsula abantu ekyo tetukyadda mabega.

Kyokka Pulezidneti wa DP Nobert Mao yagambye nti omukago gwa Besigye ne Bobi Wine tegunatuuka ku kinnyusi ddala DP kwegwetagira kugwetabamu.

Yagambye nti gukyaali ku ddala lya kuvumirira bikolobero bya Gavumenti n'okubirwanyisa, omutendera DP gwe yavaako edda.

Yagambye nti Besigye ne Bobi tebannaba kutuuka ku mutendera DP gw'eyagala ogw'okulaga ani ku babiri asaliddwaawo okulekera munne avuganya ku bwapulezidenti.

Yalaze nti okukolera awamu kirungi era kiwa essuubi ddene ery'okuwangula Pulezidenti Museveni kyokka okusinziira ye bwe yalaba enteeseganya ezaaliwo mu The Democratic alliance (TDA) ezaali e Ntinda yafuna ekyokuyiga kinene nti takyayagala kwetaba mu bintu bikyamuukiriza bawagizi nga tebigenda kuvaamu bibala birungi.

Apollo Kantinti owa FDC eyali omubaka wa Kyadondo East, ogwo omukago teguliiyo, balimba. Yagambye nti, "nze sigukiririzaamu ngenda kusigala nga noonya kalulu kange ka Kyaddondo East kubanga tewali muntu gwesobola kulekera wadde ndi wa FDC, emikago mingi gigudde, lwaki batugamba nti guno gwe gunaakola?"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...