TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Bukunja balabudde abanaagenda okuziikula Kafeero

Ab'e Bukunja balabudde abanaagenda okuziikula Kafeero

Added 20th June 2020

ABAVUBUKA b’e Masaaba mu Kyaggwe awaaziikibwa Paulo Kafeero beekozeemu eggye erikuuma entaana ne balayira okufi ira ku muntu anaalinnyayo ekigere ng’agezaako okuziikula ebisigala bye.

Amalaalo ga Kafeero

Amalaalo ga Kafeero






Bano bagamba nti byonna bwe binaaba bigaanyi Mukama n'abawa omukisa ne bategeera olunaku lw'okuziikula Kafeero bajja kukola kye baayise olutalo, waakiri Kafeero gy'agalamidde ategeere nti wadde abaana be yaleka balwanagana lw'ebyo bye yaleka, naye waliwo abaasigala bamwagala era abamulwanirira.

Omusasi wa Bukedde eyabadde alondoola emboozi ya Kafeero y'omu ku be baabadde bateebereza okuba mu kabinja k'abantu abaagala okuziikula Kafeero, era bwe baamulabye baabadde bamaliridde okumukolako, wabula ssentebe w'ekyalo gwe yabadde naye ye yamuwonyezza. Bano bali bumu n'abatuuze abasinga abawakanyiza ddala ekyokuziikula Paulo Kafeero.

Abatuuze bagamba nti wabeewo engeri endala ezeeyambisibwa okuzuula abaana ba Kafeero abatuufu okusinga okulowooleza mu kumuziikula olw'omulugube gw'ebintu.

Baagambye nti engeri endala weeziri eziyinza okuyitibwaamu okufuna Endagabutonde nga tebamuziikudde kuba tebagenda kusobola kuzzaawo kitiibwa kya ntaana eyo eyafuuka ekyobulambuzi mu Bukunja.

Abamu bawadde amagezi nti abaana ba Kafeero abakulu bayinza okwebuuza ku bantu abakulu wano mu Ggwanga oba okwekwata kw'abo kitaabwe be yabalekera bamalirize ensonga zaabwe nga tebakozesezza buyinza bwa kkooti okuziikula kitaabwe kuba kijja kuba kiswaza bo ng'abaana ate ab'olubatu abeesibye ku ky'okuziikula kitaabwe.

EYAKOLA NE KAFEERO BY'AGAMBA

Gideon Boogere: Nali mukwano gwa Kafeero nfi irabulago okuva mubuto wadde nga nze nali musinga obukulu. Nze nkwata ssente mu Kulabako Guitar Singers, era mu kiseera ekyo nalina emyaka 26 nga ye wa 17. Nakuuma omukwaano gwaffe era nkukakasa tewali Kafeero ttaka oba kibanja kye yagula nga sikimanyi.

Ebirala ng'ettaka lya Yiika 23.7 lye yagula ku Nabisooli muwala w'embuga (Muwala wa Katende) nnassaako omukono nga tuli mu Kalagi eryo liri wano ku mutala Masaaba. Okumanya twalina omukwano, Kafeero yayimba oluyimba omwali ebigambo, "Boogere jjangu nkulabeko, ompe ne bbayiro awo akapapula omwana mmubagire ekiwandiiko,", nze Boogere gwe yali ayimbako.

Ekinnuma ennyo kwe kusalawo okuziikula mukwano gwange. Naye olw'okuba birimu amateeka ekyokukola sirina kuba waliwo obutakkaanya obulina okuvaawo nga buyita mu kkooti z'amateeka Weebuuze ssinga bagenda mu mateeka kkooti n'ekizuula nti waliwo abaana abaalagibwa nti si ba Kafeero kyokka nga bamufaanana okukamala kati abo bagenda kulagawa? Kitunulemu era ani anaaba abazaala?

Amateeka ge gaawa Nanganga kitaawe wa Kafeero olukusa okuziikula mwannyina Nagawa eyali aziikiddwa ku kiggya ne Kafeero kati Kafeero yasigalawo yekka, ago ge mateeka!

Mu kiseera kino ebintu bya Kafeero saagala kubyogerako nnyo, kuba omwana we yanvuma okunsesebbula ne batuuka n'okuntwala e Kawolo ku Poliisi era nabivaamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...