TOP

'Abaagala okuziikula Kafeero banoonya byanfuna'

Added 20th June 2020

Ku ky’okuziikula Kafeero ndabamu omululu gw’ebyenfuna , ggwe omwana gwe bazadde obuzaazi ogamba otya nti gundi si mwana wa kitange, abo b’okakasa, kitaawo yamalanga kukuyita nti jjangu obeerewo nga nfunyisa gundi olubuto”, Kasimaggwa bw’abuuza Obuyinza obugoba omuntu mu kika kitammwe mwe yamuleka obuggya wa? Ye watya ng’okikoze nnyina yafa oba ogenda kumuzza ludda wa?

Ennyumba omuli amalaalo ga Kafeero.

Ennyumba omuli amalaalo ga Kafeero.

Aloysious Kasimaggwa: Nze Ssentebe w'ekyalo kino Busansula okuli ekiggya kya Kafeero, wadde ng'abasinga bamanyi Masaaba.

Kituufu ensonga z'okuziikula Kafeero nziwulira era nzigoberera bulungi ne muganda wa Kafeero Nende yajja n'azimpitiramu nti olw'enkaayana eziriwo wakati w'abaana basazeewo okuziikula Kafeero.

Yaηηambye nti abaana baamaze okubaggyako omusaayi ekisigadde kufuna ssente ziziikula Kafeero. Yaηηambye nti baabasaba obukadde 15 ne bafunako 10 kati wasigadde butaano omulimu gugende mu maaso.

Ekyokubiri kye yaηηambye nti omuntu eyalima ebikajjo ku ttaka lya Kafeero tebamumanyi era teyabategeezaako noolwekyo aliwo mu bukyamu era tebamwagalako. Nabawabudde nti ekyo kye baagala okukola kikyamu naddala ku Isaac Mufumba kuba oyo aliko mu makubo matuufu.

EKIKULU KYA BYANFUNA

Kasimaggwa annyonnyola nti; Mufumba yaleetebwa abaana ba Kafeero okwali' Swaz ne Simon ng'ayagala ettaka eryokupangisa alimireko ebikajjo ne bamupangisa yiika ttaano ku bukadde butaano, okumala emyaka etaano ne bakola endagaano wano mu maaso ga LC. Endagaano n'agissaako omukono.

Waliwo omuntu omulala alimirako ebikajjo oyo tebaamuleeta wange, omulala alima muceere naye tebaamuleeta Kuliko n'omulala eyasaawa nga kati atema layini za bikajjo naye tebaamumuleetera, naye akimanyi nti abo bonna bakolagana n'abaana ba Kafeero wadde mu butongole tebali mu bitabo bya LC. Kasimaggwa agamba nti wadde guli gutyo tewali yatunze ku ttaka wadde ekibanja kya Kafeero.

Ku ky'okuziikula Kafeero ndabamu omululu gw'ebyenfuna , ggwe omwana gwe bazadde obuzaazi ogamba otya nti gundi si mwana wa kitange, abo b'okakasa, kitaawo yamalanga kukuyita nti jjangu obeerewo nga nfunyisa gundi olubuto", Kasimaggwa bw'abuuza Obuyinza obugoba omuntu mu kika kitammwe mwe yamuleka obuggya wa? Ye watya ng'okikoze nnyina yafa oba ogenda kumuzza ludda wa?

EBIBANJA EBIRALA TEBABIFUDDEEKO

Waliwo ekibanja ekirala ekiri mu ttaka lya Kaggwa, kibalemye okununula bali mu kunywa. Ekibanja kigenda, kuba ndaba nnyini ttaka ajja ku kibatwalako kuba ndaba kyonna akirimye.

Ekibanja kinene yiika nga ttaano, kyali kya Mugula era ye yakiguza Kafeero. Tebafuddeeyo kukiggyayo osanga baalikiwadde bannaabwe be bagobaganya olwo ne luggwa. Tebasobola kutwebuzaako bali Kampala mu kucakala ebintu bya kitaabwe bisaanawo.

Ekibanja ekyo mmanyi bulungi alina endagaano zaakyo mutuuze munnaffe kuno, naye musajjawattu anaakola ki ku bigambo ebiri awo. Nnatuukirira Mandeevu teyafaayo, tulwanye ne Boogere, kyokka be kikwaatako tebafaayo, naffe amaanyi gatuweddemu Abaana abo baalyekubye mu kifuba ne batuula ng'ekika ne bataziikula kitaabwe kuba nabo bakimanyi nti byanfuna bye bireese obuzibu, kuba Obukadde 15 zinunula ekibanja kya kitaabwe Waliwo ekibanja ekirala e Kalege nakyo kiriko bikajjo amaanyi bagatadde ku kuziikula Kafeero, simanyi abawa magezi ago.

Ne kkooti nazo okusinziira nga eyo ne basalawo nga bwe baagala nga tebasobodde kutuuka ku byalo awali enkaayana okwo nakwo kusoomoozebwa.

Okumuziikula kijja kumalawo ekitiibwa ky'entaana ya Kafeero, omuntu okuwulira nti baamuggyamu abalala ne bw'obategeeza nti baggyayo ggumba ebyo tebabiwulira batwala kya kuba nti Kafeero yaziikulwa ne bamutwala okukebera endagabutonde bazza bitundu.

Abantu n'okutuusa Kati bajja ne balambula entaana ne bamusabira ne bawaayo ne ssente. Bamanyi Kafeero mwali kati tunaabagamba tutya!

Ye abo abali mu kukaayana ani agenda okuziikula Kafeero kuba entaana erina okumenyebwa ani agenda okugizzaawo esigaze ekitiibwa kyayo kuba hhumu nnyo ate weeri wafunda eriraanye ebisenge bye balina okumenya! kibi nnyo!"Bwatyo Ssentebe Kasimaggwa bwe yawunzise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...