TOP

Bagenda kukolera Ggwanga ekijjukizo

Added 20th June 2020

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti y’e Mubende, basazeewo okuzimba ekijjukizo kye bagenda okubbulamu Maj. Gen. Kasirye Ggwanga nga bamujjukira olw’emirimu emirungi gy’akoledde ekitundu ekyo n’eggwanga okutwalira awamu.

Omugenzi Kasirye Ggwanga

Omugenzi Kasirye Ggwanga







Maj. Gen. Samuel Wasswa Kasirye Ggwanga yafudde wiiki ewedde era n'aziikibwa abantu abaabadde abalondemu ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, e Nkene Busujju era baamukubidde emizinga 13 ng'akabonero ak'okussa ekitiibwa mu mirimu gy'akoledde eggwanga naddala mu magye mwe yamala emyaka egisukka mu 40.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Mubende Kibuuka Amooti, yategeezezza Bukedde nti baasazeewo okussaawo ekijjukizo kya Kasirye Ggwanga e Mubende nga bajjukira ebirungi bye yabakolera emyaka etaano gye yamala nga Gavana wa Mubende ng'ekyatwaliramu ne Mityana kw'ossa by'abadde akyabakolera okuva lwe yasalawo obutaddamu kwesimbawo mu 2006.

Kibuuka yagambye nti bakyakubaganya birowoozo ku kika ky'ekijjukizo kye bagenda okukola kubanga abamu basemba kibeere kibumbe, abalala baagala kibeere kizimbe so ng'eriyo n'abalowooleza mu ku mubbulamu oluguudo kubanga Kasirye yakola enguudo nnyingi naddala ez'ebyalo ate ng'azikola n'abatuuze mu nkola ya bulungibwansi.

Amooti yategeezezza nti balindiridde olukiiko lwa disitulikiti yaabwe okutuula ensonga eno bagyanjule era bagikubaganyeko ebirowoozo ng'ekinasinza obululu, kye baggya okugenderako.

Abantu ab'enjawulo bakyagenda ku kiggya kya Kasirye okuganzikako ebimuli ku ntaana kubanga tebaafuna mukisa kuteekebwa ku lukalala lw'abaziisi wiiki ewedde olw'amateeka g'okulwanyisa Corona.

Joseph Lwanga Ssentebe w'ekyalo we baaziise Kasirye yagambye nti ab'ekyalo be baagaana okuziika nga tebali ku lukalala, be baasoose okugenda ku kiggya okussa ekitiibwa mu muzira waabwe.

Wabula Lwanga yagambye nti yawadde abatuuze be amagezi obutagenda mu kibinja wabula bagende omu kw'omu baleme kumenya mateeka ga kweriraana.

Yagambye nti wadde ekifo kikyakuumibwa abaserikale ba UPDF wabula basanyufu nti bawuliriza abantu ababa bazze okuyiwa ettaka ku muntu waabwe gwe bataasobola kuziikako; naddala abo abaali mikwano gye.

MU SSOMERO YALI MWANA WA DDALU

Joyce Ziribaggwa Kamya; Natandika okusoma mu 1960, era waliwo ekibiina kye yasigalamu mwe namusanga ku Mityana Junior. Yalina muganda we Nakato bwe twali twagalana ennyo ng'abaka nnyo omupiira.

Wasswa nga bwe twali tumuyita, yali mulalu nnyo nga bw'asalawo okukola oba okwogera ekintu takirumamu.

Bwe twali mu P.4 kye nsinga okujjukira, Kasirye yali ayagala nnyo Nakato era nga k'omukoonako akuggulako olutalo n'akukuba. Yali amanyi n'okunoonyeza Nakato emiyembe n'agimuwa era nga nange kwe ndiira.

Mu kiseera ekyo eyaliko omulabirizi wa Central Buganda, George Ssinnabulya ye yali omukulu w'essomero lya Mityana Junior School mwe twasomera Pulayimale.

Lumu omukulu w'essomero yandabula okwegendereza Wasswa kuba yali mulalu nnyo. Bwe twamaliriza Junior 1 nga tugenda mu siniya ne twawukana nze ne ng'enda ku Mityana S.S.S ne Nakato ate Kasirye ne bamutwala e Kibuli.

Ng'enda okuddamu okuwulira ng'ayingidde amagye. Ye muntu atabadde na katijjo kyokka nga bw'akusanga ku kkubo takuyitako nga ne bw'oba tomulabye akuba eng'ombe n'akubuuzaako. Kyokka kyabadde takola kwe kumala gakyala mu maka g'abantu.

Wadde nga maama Nnaalongo eyali amuzaala yafa dda, kyokka abadde amusubwa era nga bwe tuba twogera aking'amba nti; ‘Kale singa Mmange waali'.

Buli lw'abadde ansanga ng'ambuuza nnyo amannya ga ssentebe w'ekyalo, DPC, RDC, RPC era nga bwe mbaako gwe simanyi ng'angamba tusooke tugende amundage era ng'akikkaatiriza nti buli muntu alina okumanya abakulu abamuliraanye abasobola okumuyamba ng'afunye obuzibu. ennyo kyokka nga ku lukalala tebaateekebwako.

Mu bantu abaagenzeeyo okuyiwa ettaka ku Maj. Gen. Kasirye Ggwanga mu wiiki eno kwe kuli n'abayimbi Jose Chameleone ne Spice Diana ababaddeyo ku Lwokusatu ate nga kkansala Mohammed Ssegirinnya amanyiddwa nga "Ddoboozi lye Kyebando" ye yaliyo ku Mmande.

Erieza Lubowa 82, abadde amanyiddwa mukwano gwa Kasirye Ggwanga yagambye nti tekiba kuba kiseera kya Corona, abantu abandiziise Kasirye banditaddewo likodi kubanga abadde mukwano gwa bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...