TOP

Ebyabadde mu kafubo ka Bobi Wine ne Mao

Added 20th June 2020

Bobi Wine ne Mao

Bobi Wine ne Mao


Mao bwe yamaze okusisinkana Bobi Wine n'ateeka obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter, obugamba nti: Weebale nnyo Hon. Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okunkyalirako mu kayumba kange wano e Ntinda.

Nze n'ekitebe kya DP tuli beetegefu okuteesa ku ngeri gye tuyinza okukolaganira awamu okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga. Ba mwoyo gwa ggwanga bonna balina okuba abeetegefu okukulembeza amazima n'obwenkanya mu Uganda empya.

Ensisinkano eno yabaddewo nga waakayita ennaku nnya zokka nga Bobi Wine amaze okwegatta wamu ne Dr. Kizza Besigye ne balangirira kampeyini empya egatta bannabyabufuzi abakkiririza mu nkyukakyuka n'ekigendererwa eky'okukolera awamu batwale obukulembeze bw'eggwanga mu kalulu k'omwaka ogujja. Omukolo baagutegekera ku wooteeri y'omubaka Florence Namayanja eyitibwa Flora Hotel e Wakiso ku Lwokutaano oluwedde.

Joel Ssenyonyi omwogezi wa People Power yagambye nti okusisinkana Mao kyakoleddwa mu mutima omwanjulukufu ogw'okutema empenda ezireeta enkyukakyuka mu ggwanga.

BOMBI BYE BAAYOGEDDE

Olukiiko okubeerawo, Bobi Wine ye yakubidde Mao essimu ng'amusaba okumusisinaka. Essimu yagikubye ku Lwakubiri ku ssaawa 2:00 ez'oku makya era bagenda okuva ku ssimu nga bakkaanyizza basisinkane ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo lw'olunaku olwo lwennyini mu maka ga Mao agasangibwa e Ntinda - Minister's Village mu Kampala.

Ensisinkano eno okubeerawo, Mao yabadde amaze okutuuza olukung'aana lwa bannamawulire ku kitebe kya DP n'ayogera ku nkolagana ya Besigye ne Bobi Wine n'ategeeza nti kabonero kalungi wabula kakyali ku mutendera gwa wansi ogw'ebisinde ebibiri; People Power ekulemberwa Bobi Wine ne People's Government eya Besigye.

Mao yategeeza nti DP w'eyagalira okwegattira mu nkolagana eyo erina okuba ng'etuuse ku mutendera gw'ebibiina okukakasa nti ebiruubirirwa byabyo tebibulira mu nkolagana ebeera etuukiddwaako.

Ensonda zaategeezezza nti Mao yasoose kulaga butali bumativu olw'engeri ekisinde kya People Power gye kyawudde mu bakulembeze ba DP abamu ne batuuka n'okumulwanyisa obutereevu.

Ensonga y'okuba nti Bobi Wine yalonda banna DP okukulembera ekisinde nga tamwebuuzizzaako nayo yalaze nti teyamusanyusa.

Mu baalondebwa okukwanaganya emirimu gya People Power kwaliko ne bammemba ba DP abatuula ku kakiiko akafuzi ak'oku ntikko okuli Florence Namayanja ne Sulaiman Kidandala eyawummuzibwa, wabula Bobi Wine n'amulonda ku kakiiko ak'enjawulo akakwanaganya eby'okulonda.

Okwemulugunya kwa Mao, kyategeerekese nti Bobi yakututte nga kukulu era n'amugamba nti wadde teyamwebuzaako, kyokka ekisinga obukulu kwe kuba nti baasigala mu lutalo lw'okununula eggwanga bonna kye bayayaanira era n'amukakasa nti bagenda kuba bongera okuwuliziganya obulungi okwongera okunyweza enkolagana.

Akafubo keetoololedde ku kusaba kwa Bobi ng'ayagala obukulembeze bwa DP bwonna bumwegatteko mu kuyigga akalulu ka Pulezidenti ak'omwaka ogujja era Mao n'amutegeeza nti bagenda kwongera okusisinkana n'okwebuuza ku bannakibiina kya DP okusalawo enkolagana bw'enaafaanana.

Ensonda zaategeezezza nti Mao akyekengera okuwagira ennyo People Power ng'atya nti DP eyinza okubulira mu kisinde ate ng'amaanyi ge nga Pulezidenti wa DP gali nnyo ku bantu b'asunsula okuwa kkaadi ya DP naddala mu bitundu ekibiina gye kirina amaanyi.

Mao era yeekengera n'abantu abamuwakanya ennyo munda mu kibiina ate nga baaweebwa ebifo eby'oku mwanjo mu People Power okuli Medard Lubega Sseggona, Muwanga Kivumbi, Kidandala, Namayanja, Mathias Mpuuga, Dr. Lulume Bayiga, Luttamaguzi Ssemakula n'abalala.

Bano ate gye baagenze mu nkolagana ne Bisigye ate baasanzeeyo abantu abalala abatalima kambugu ne Mao okuli Erias Lukwago ne Betty Nambooze era bino kigambibwa nti bikyabobbya Mao omutwe.

Mao ne Bobi baayogedde ku nteeseganya ezatuukiddwaako wakati wa Bobi Wine ne Dr. Kizza Besigye era ne boogera ne ku kaweefube w'okulaba nga ku buli kifo basimbawo omuntu omu okuva ku ludda oluvuganya gavumenti.

Baayogedde ku nteekateeka empya eyafulumiziddwa akakiiko k'eby'okulonda eyaweze enkung'aana mu kampeyini era ne boogera ne ku kwewala okukozesa olulimi olunafuya abakulembeze abalala bwe bali ku ludda oluvuganya gavumenti kubanga bonna balina ekigendererwa kyekimu eky'okuggyako Pulezidenti Museveni era ne boogera ne ku kutya okuliwo okw'abantu baabwe abasala eddiiro ne beegatta ku NRM.

Omwogezi wa Mao ayitibwa Fred Mwesigwa yagambye nti enteeseganya zino zagguddewo oluggi lw'enteeseganya endala ezinaddirira.

Bobi ne Mao baawunzise bakkaanyizza okwanjulira abantu be bakulembera ebyatuukiddwaako era enjuyi zombi ziveeyo n'ebirowoozo bye banaateesaako nga bazzeemu okutuula mu lukiiko olunaddako. DP yaakutuuza olukiiko olw'oku ntikko nga July 1, 2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...