TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka akubirizza abantu okwekebeza obulwadde bwa Nnalubiri

Kabaka akubirizza abantu okwekebeza obulwadde bwa Nnalubiri

Added 21st June 2020

SSAABASAJJA KABAKA AKUBIRIZZA ABANTU OKWEKEBEZA OBULWADDE BWA NNALUBIRI

BYA  Dr. Prosperous Nankindu Kavuma.

Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku nsi yonna ku lunaku lw'endwadde ya siikoseero (Nnalubiri), Ssaabasajja Kabaka n'akubiriza abantu  okunyiikira okwekebeza obulwadde buno.

 Mu kiseera kino ng'eggwanga litawaanyizibwa endwadde ya ssennyiga omukambwe, coronavirus, twagala okujjukiza abantu nti obulwadde obulala bwonna omuli ne Nnalubiri wamu  ne Mukenenya bukyaliwo noolwekyo togoberere nnyo okulung'amizibwa kw'abasawo.

Mu mwaka 2017 okutuuka mu 2019 Ssaabasajja yasiima emisinde gy'amazaalibwa ge egya buli mwaka gibeere ku bulwadde bwa Nnalubiri. Obwakabaka nga buli wamu ne Minisitule y'Ebyobulamu mu Gavumenti eya wakati bufubye okumanyisa abantu ku bulwadde buno. Kino kiyambye abantu abaalina endowooza enkyamu ku bulwadde bwa Nnalubiri omuli okusosola abalwadde okugireka..

Ssabasajja akubiriza abantu okwekebeza obulwadde bwa Nnalubiri naddala nga tebannafumbiriganwa. Era Obwakabaka nga buyita mu kitongole kyabwo eky'ebyobulamu n'ekitongole kya Kabaka Foundation buzze bukuba ensiisiira z'ebyobulamu mu bitundu bya Buganda eby'enjawulo okusomesaa bantu era n'okubakebera obulwadde bwa Nnalubiri ku bwereere. Kino kisobose olw'ensimbi ezaava mu misinde gy'Amazaalibwa ga Beene mu bbanga ery'emyaka esatu. Ensimbi zino zaagulibwamu ebikozesebwa okukebera obulwadde bwa Nnalubiri.

Ku nsonga eyo nneebaza abantu ba Beene olw'okujjumbiranga emisinde gino.

Beene yalengerera wala kubanga okunoonyereza okwakolebwa Minisitule y'Ebyobulamu kwalaga nti Buganda y'emu ku bitundu bya Uganda ebisingamu obulwadde bwa Nnalubiri.  Okunoonyereza kuno kwalaga nti abaana abasoba mu 15,000 abazaalibwa n'obulwadde bwa Nnalubiri bafa nga tebannaweza myaka etaano.

Nga tujjukira olunaku lwa Nnalubiri olwa June 19, twongera okukubiriza abantu okubudaabuda n'okufaayo eri abantu abalina obulwadde buno.

Omuwandiisi Minisita w'Obwakabaka avunaanyizibwa ku nkulaakulana n'ebyobulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...