TOP

Nobert Mao awadde ebiragiro ebikambwe

Added 23rd June 2020

EKIBIINA kya DP kikalambidde ku kuwakanya akakiiko k’ebyokulonda ku nteekateeka yaako ey’okuwera enkungaana mu kulonda okubindabinda. Pulezidenti wa DP Nobert Mao ategeezezza akakiko k’ebyokulonda kateekwa okubawuliriza.

Mao ng'ayogerera mu lukung'aaana lwa bannamawulire

Mao ng'ayogerera mu lukung'aaana lwa bannamawulire

Yawadde amagezi nti enkungaana zikubibwe nnaye nga zigoberedde amatteeka g'ebyobulamu. Yagambye nti baagala okulonda kubeerewo olunaku lumu ate bawakanyizza ssente ezisiddwa ku bagenda okuvuganya nti zaakukebera mpapula za muntu agenda okwesimbawo.

Yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire olutuula ku City House buli lwakubiri.

Mao yategeezezza nti Gavumenti esusse okukozesa embeera y'obulwadde bwa COVID 19 okulemesa bannabyabufuzi nti naye tebagenda kukiriza kubanga bateekwa okuyambako ku bantu baabwe.

EBIRALA;

Mao yalangiridde nti bagenda kusisinkana abavuzi ba bodaboda bonna mu Kampala nga batandikira ku bakulembeze baabwe bababuulire ekyokukola naddala okubaga ekiwandiiko bakitwale mu palamenti ku mbeera y'okugaanibwa okukola. Yagambye nti oba Gavumenti yakiriza ttakisi ate lwaaki pikipiki za bodaboda zigaanibwa.

Ku bakulembeze abeeyita aba DP kyokka nga baabadde bavuganya nga tebalina kaadi ya kibiina , yalagidde nti okubakiriza bateekwa kusaba lukiiko lwa NEC ne babakiriza.

"DP tegenda kwegayirira muntu yenna era abalowooza nti banene okusinga ekibiina abo balabye tebagenda kuweebwa kaadi. Abaagenda ne bakola ebisinda okutandikira ku suubi, TJ n'abalala kati bangi balina gyebali ekibiina kibalinze " Mao bwe yagambye.

AKAKIIKO;

Wakati ku kwetegekera okulonda okugya , Mao alangiridde akakiiko ka bantu bana abagenda okwongera okutereeza ekifaananyi kya DP mu mikutu kya mawulire nga baanukulirawo omuntu asiiga ekibiina enziro.

Akakiiko kano kuliko Fred Mwesigwa, Kamya Kasozi, munnamawulire Sarah Adong , ne Good Luck Musinguzi era bonna bagenda kutuula ku kitebe ky'ekibiina ku City House.

Yagambye nti pulezidenti Museveni akyalina enkizo nnene mu kalulu kano kubanga embeera esiddwaawo ey'okunonyeza akalulu ku mikutu gya mawulire n'ebikozesebwa byonna yaabirina naabantu be okutandikira ku miruka, ku ba LC ku byaalo, Ba mbega, n'abamu ku bakozi ga Gavumenti kyokka basaba akakiiko k'ebyokulonda kakimanye nti kano akalulu ka bantu sib a bakulembeze era basaana bakategeke n'obwegendereza nga bagoberera ssemateeka bwaruganya kubanga mu ssemateeka temuli nteekateeka ya kulonda efaanagana n'eyalangiriddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku ba ssentebe b’ebibiina bya ttakisi okuli Kalifan Musajja Alumbwa (ku kkono) ne Mustafa Mayambala.

KCCA ettukizza eby'okusoloo...

KCCA ettukizza eby’okusasuza abattakisi ssente za lisiiti eya buli mwaka era ebalagidde beetereeze ng’okusasula...

Abasuubuzi nga balumbye Willy Walusimbi (atudde ku ddyo) mu ofiisi.

Ab'akatale k'e Nakasero bat...

ABASUUBUZI b'omu katale k'e Nasekero bavudde mu mbeera oluvannyuma lw'abamu ku baali abakulembeze abaagobwamu KCCA...

Dr. Lwanga ne Fr. Nkeera.

Dr. Lwanga akyusizza Fr. Nk...

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Bafaaza n'akyusa abadde...

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...