TOP

Bobi alaze pulaani y'akalulu ka 2021

Added 23rd June 2020

BOBI Wine agambye nti wadde awuliddeyo amaloboozi agoogera ku ky’okuzira akalulu olw’entegeka empya eyalangiriddwa akakiiko k’eby’okulonda; kyokka ye n’aba People Power bagenda kukayingira awatali kudda mabega.

Bobi Wine ng’ayogera mu lukuhhaana lw’abamawulire e Kamwokya eggulo.

Bobi Wine ng’ayogera mu lukuhhaana lw’abamawulire e Kamwokya eggulo.






Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) yalaalise nga bw'atagenda kukkiriza bya butakuba nkuhhaana kubanga akakiiko k'ebyokulonda bwe kaabadde kabisalawo keebuuzizza ku muntu omu Pulezidenti Museveni ate nga naye asuubirwa okuvuganya ku kifo kye kimu ekya Pulezidenti mu kalulu ka 2021.

Yagambye nti okukuba enkuhhaana mu kunoonya akalulu k'Obwapulezidenti kiri mu mateeka era bw'anaaba azikubye ajja kuba atambulidde mu Ssemateeka ky'alagira.

Bino Bobi Wine yabyogedde eggulo mu lukuhhaana lwa bannamawulire olwabadde ku kitebe kya People Power e Kamwokya mu Kampala ng'ali wamu n'ababaka ba Palamenti abakkiririza mu kisinde kya People Power n'abawagizi b'ekisinde abalala.

Kyagulanyi yalabudde ab'akakiiko k'ebyokulonda ku ntegeka y'okulonda gye baayanjudde egaana enkuhhaana z'ebyobufuzi wamu n'okuyisa ebintu ebirimu kyekubiira n'agamba nti Ssemateeka obuyinza bw'abawa bwa kutegeka kalulu ak'amazima n'obwenkanya.

Yagambye nti ab'akakiiko k'ebyokulonda beekwese mu bulwadde bwa Corona okwanjula entegeka eyamba ekibiina ekiri mu buyinza wabula bino abakulembeze ba NRM baabisambazze ne bategeeza nti okukulembeza akalulu n'oleka obulamu bw'abantu mu katyabaga, tebuba bukulembeze bulungi.

Wiiki ewedde Minisita w'ebyamawulire, Judith Nabakooba yalabudde abantu obuteetaba mu kampeyini ya kukuba buseppiki eyalangirirwa Bobi Wine ne Dr. Kizza Besigye ng'agamba nti obulwadde bwa Corona busobola okubakwata nga beekalakaasa.

Bobi Wine mu kwogera yagambye nti: Amerika yaakafiirwa abantu abasukka emitwalo 10, erina n'abalwadde abasukka obukadde 2 ku ssaawa eno bakuba enkuhhaana za kampeyini.

Kati wano baziremesa batya! Yagambye nti Gavumenti eri mu buyinza ekigitiisa kati si Corona, ekigitiisa kalulu! Yayongeddeko nti baatandika okumulemesa enkuhhaana z'okwebuuza ku balonzi nga ne Corona tannajja, era eky'okuzigaana nga beesigama ku Corona baba bakozesa embeera eriwo okufuna kye baludde nga bayaayaanira.

Kyokka omwogezi w'akakiiko k'ebyokulonda, Jotham Taremwa yagambye nti bye baalangirira byonna biri mu mateeka agabawa obuyinza okutegeka okulonda mu mbeera ekusobozesa okubeerawo ne kuggwa mirembe n'agamba nti ofiisi zaabwe nzigule okuwuliriza ebirowoozo by'abategeka okuvuganya n'ebibiina by'ebyobufuzi ebirala; n'agattako nti atakkaanya n'ekyo asobola okukozesa ekkubo lya kkooti.

Bobi Wine yakkaatirizza nga bw'agenda okwesimbawo avuganye Pulezidenti Museveni mu kulonda okujja n'agamba nti nga People Power tebagenda kuzira kalulu kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chico ne mukazi we

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...