
Bannamwandu ba Kafeero okuva ku kkono; Musawo Babirye, Bisirikirwa, Namata ne Nankya
Robinah Bisirikirwa ataazaala mu Kafeero, era tayagala kumuziikulaawakanya ebya musawo Ntale Babirye ow'e Mulago nga naye teyazaala mu Kafeero.
Ate abaazaala ekisinze okubatabula kwe kuba nti abaana abamu abaakeberwa ebyava mu musaayi byalaga nti si ba Kafeero, nga y'ensonga lwaki abamu baagala aziikulwe babakebere buto, so ng'abazaala abaana abana abagamba nti be baana ba Kafeero bokka, bawakanya okumuziikuula.
Wadde nga bayomba, Babirye ne Bisirikirwa tebawagira kya kuziikula Kafeero wabula Babirye agamba nti ky'atayagala ku Bisirikirwa kwe kusalangawo ku buli nsonga ya Kafeero kyokka nga Kafeero yafa agaanyi n'okumwanjula mu kika kye eky'omugenzi Umar Nanganga.
"Nze nnamwandu nzekka Kafeero gwe yakkiriza n'okulaga bazadde be. Bisirikirwa yasaba Paulo amutwaleyo n'agaana kati ayogera ki?" Babirye bwe yeebuuzizza.
Yagambye nti bannamwandu baali bangi naye ajjukiramu bamu omuli n'omwana w'Omuzungu, Kathryn Barret Gaines. Ye Bisirikirwa agamba nti waliwo bannamwandu abakaayana nga n'abaana be balina si ba Kafeero.
Kino Immaculate Namata alina abaana ababiri yakiwakanyizza ng'agamba nti ekizibu kye balina buli muntu ayogera nga bw'alabye ate ng'ebimu bibalumya ng'abazadde abazze babonaabona n'abaana nga bannaabwe babeegaana.
Agamba nti nga Kafeero tannafa, yali akaayana naye ne baatuuka n'okugenda mu kkooti nga talabirira baana ababiri be yamuzaalamu okuli Mark ne Tony Kafeero kati abalina emyaka 20 ne 23 era bombi baakoma mu S6 ne babulwa ffiizi.
Namata agamba nti ayagala Kafeero aziikulwe abaana be bafune obwenkanya. Yeewuunya Bisirikirwa bw'agamba nti y'alina ekyapa ky'e Masaba - Nkokonjeru mu Buikwe, Kafeero we yaziikibwa nti n'entaana ye yagizimba kyokka ng'ate n'omukuza w'abaana, Mandevu agamba nti y'alina ekyapa n'entaana ye yagizimba.
ENSIBUKO Y'OBUTAKKAANYA
Kafeero yafa n'aleka bannamwandu bangi n'abaana. Wabula emyaka esatu egiyise, abaana baatandika okwerumaaluma olw'ebyobugagga bya kitaabwe.
Abaana abana baagenda okwekebeza omusaayi ne bakuyega ne bannaabwe abamu ate bwe baatuukayo ne bagamba nti ku baana 15, abatuufu bali bana bokka.
Abasigadde baabiwakanya ne bagenda mu kkooti eyabakkiriza okuziikula Kafeero bamuggyeko obutaffaali bukozesebwe okuzuula ekituufu ku baana abo.
Fatumah Nankya ow'e Namawojjolo nga y'azaala Cate Nalukwago yalangidde Bisirikirwa okukozesa ssente z'amabugo okuzimba entaana ya Kafeero n'agyeragirako nga bwe yakola ennyo olwo n'alowooza nti kw'anasinziira okubasalirawo.
Nankya yategeezezza Bukedde nti ayagala Kafeero aziikulwe omwana we afune ekika kyokka ekizibu ye Bisirikirwa gw'agamba nti yeekiise mu nteekateeka eyo, kyokka nga yagaana okuzaalira Kafeero, n'azaalira abasajja abalala mu bbanga ttono nga Kafeero amaze okufa.
Wabula Bisirikirwa yakalambidde n'agamba nti Nankya alina okukimanya nti Kafeero yalina enkwaso nnafu olw'okunywa ennyo omwenge ye (Bisirikirwa) kye yava tamuzaalamu.