TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi akubye omwana wa mujja we akakumbi ku mutwe n'amutta n'amusuula mu kabuyonjo

Omukazi akubye omwana wa mujja we akakumbi ku mutwe n'amutta n'amusuula mu kabuyonjo

Added 25th June 2020

Asse omwana wa mujjawe n'amusuula mu kabuonjo

Abantu nga baggyayo omulambo gw'omwana mu kabuyonjo

Abantu nga baggyayo omulambo gw'omwana mu kabuyonjo

OMUKAZI akkakkanye ku mwana wa Mujja we n'amukuba akakumbi ku mutwe n'amutta. 
Entiisa eno abadde Kinoni mu Town Council ye Lwengo omukazi amanyiddwa Nakanwagi Sophia bw'akakanye ku mwana we mujja we Abdul  Shakulu ow'emyaka 10 n'amukuba akakumbi ku mutwe akamuttiddewo omulambo n'agusuula mu kabuyonjo ng'amulanga okulya ekijjo kye.
Bba w'omukyala ono Muhammad Mukasa amanyiddwa nga muzungu ategeezezza nti omukazi we bulijjo abadde yamulimba nga omwana bwe yabula nga amutumye ku luzzi era abadde yamulimba nti baana banne bamugamba nti waliwo omusajja eyali akutte ejjambiya eyamutwala.
Wabula kino kiwaliriza poliisi okukwata bba w'omukazi naye n'atwalibwa ku poliisi mu kiseera kino bw'ombi babiri bakumibwa ku poliisi ye Kinoni gye babaabuulizza akamu n'akataano okukkakkana ng'omukazi ayogedde ekikola kye yakola ku mwana nti yeyamutta n'amusuula mu toilet.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...