TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't eteekateeka kwewola ssente ziyambeko ku byobulamu, amazzi n'enguudo

Gav't eteekateeka kwewola ssente ziyambeko ku byobulamu, amazzi n'enguudo

Added 26th June 2020

GAVUMENTI eyagala okwewola ensimbi ziyambeko mu by’Obulamu, enguudo n’okusaasaanya amazzi amayonjo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.





Bwe yabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby'enfuna by'eggwanga (committee on National economy), akakulirwa omubaka w'e Nakaseke North Syda Bbumba, Minisita Omubeezi avunanyizibwa ku kuteekerateekera eggwanga David Bahati yasabye Palamenti okuyisa looni ez'enjawulo omuli;

Okwewola obukadde bwa ddoola 30 okuva mu Exim Bank eya Buyindi ziyambeko mu kussaasaanya amazzi amayonjo agatali ga kusasulira mu disitulikiti 17 okwetoloola eggwanga. Amazzi gano gajja kuba gakozesa maanyi ga njuba.

Okwewola obukadde musanvu n'ekitundu obwa Euro okuva mu Unicredit Bank eya Austria okuzimba ekifo awakebererwa n'okujjanjaba obulwadde bwa Kansa e Gulu.

Okwewola obukadde 235.458 obwa ddoola okuva mu African Development Bank okuzimba enguudo ssattu okuli; Namagumba - Budadiri- Nalugugu (29 km), Katuna-Muko- Kamuganguzi (104 km) ne Laropi-Moyo-Afoji (37km) nga luno luli ku nsalo ya Uganda ne South Sudan.

Okwewola obukadde 68.5 obwa doola okuzimba oluguudo lwa Kabaale-Lake Bunyonyi-Kisoro Mgahinga okuva mu African Development Fund.

EY'AMAZZI BAGIGAANYE

Looni zino Ababaka bakkiriziganyizza nazo okujjako ey'amazzi gye baagambye nti empapula aba Minisitule y'amazzi ze baaleese zaabadde tezikwatagana.

Wabula Ababaka baalaze okutya olw'ebbanja lya Uganda eryeyongera buli lunaku. Omwaka gw'ebyensimbi 2018/19 we gwagwerako Uganda yali ebanjibwa Obuse 47.3 (Trillion) wabula nga zino zeeyongerako dda mu kiseera kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.