TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyawona CoronaVirus n'asiibulwa azzeemu okufuna obubonero n'asattiza ab'ebyobulamu

Eyawona CoronaVirus n'asiibulwa azzeemu okufuna obubonero n'asattiza ab'ebyobulamu

Added 26th June 2020

Eyawona ekirwadde kya COVID 19 mu ddwaliro e Mulago azzeemu okufuna obubonero bw'akawuka ka Corona Virus n'asattiza ab'ebyobulamu mu disitulikiti y'e Sembabule.

Akulira ebyobulamu e Sembabule Dr Matovu Charles ng'aliko by'annyonnyola ku mulwadde ono

Akulira ebyobulamu e Sembabule Dr Matovu Charles ng'aliko by'annyonnyola ku mulwadde ono





Okusinziira ku Akulira ebyobulamu e Sembabule Dr Charles Matovu, omusajja ono ategeerekeseeko erya Niwagaba moses ow'emyaka 23 nga muvuzi wa bimotoka  "Truck" mu South Sudan alaga nti yafuna akawuka ku nsalo ya Elegu n'atwalibwa mu kwawulibwa mu ddwaliro eMulago gyeyawonera ekirwadde kino kyokka ono abadde azzeemu okuwulira obubonero okuli senyiga, okukolola wamu nomusujja.
Ono asangiddwa mu bitundu by'eMakoole mu ggombolola y'eLwemiyaga ng'atambula okuva eMubende gy'abadde yeekukumye ne mikwano gye nga yeewala okuddizibwaayo mu kwawulibwa wabula olulabye nga embeera yeyongera kubijja n'akuba ku minisitule olwo n'aba Disitulikiti y'eSembabule webamusangidde n'assibwa mu Ambulance okumuddusa ku ddwaliro ekkulu eMubende oluvannyuma lw'ebitanda eMasaka okuggwaawo.
Mu kiseera kino amaze okujjibwako sampo za Covid nga Dr Matovu ategeezezza nti azuuliddwa n'ekirwadde ky'omusujja n'aweebwa amakerenda wabula nga balina enteekateeka okunona baabadde abeera nabo beekebejjebwe.
Disitulikiti y'e Sembabule mu kiseera kino yaakawezaawo abateeberezebwa okuba n'ekirwadde kino 41 nga tewannabaawo azuulibwa nakyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyagulanyi ng’alaga Byabakama ebimu ku bifaananyi by’effujjo erizze limukolebwako abeebyokwerinda.

Omulamuzi Byabakama ayanuku...

OLUVANNYUMA lw'okusisinkana ttiimu ya NUP eyakulembeddwa Kyagulanyi, omulamuzi Simon Byabakama yannyonnyodde ku...

Kyagulanyi ng’alaga Byabakama ebimu ku bifaananyi by’effujjo erizze limukolebwako abeebyokwerinda.

Bobi atutte ensonga 7 mu ka...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) awadde akakiiko k'ebyokulonda ensonga musanvu z'ayagala batereeze okusobola...

Gloria Nakiboneka eyafudde.

Enfa y'owa poliisi ekyatabu...

ENFA ya ofiisa wa poliisi abadde akulira ofiisi ekola ku nsonga z'amaka n'abaana e Kabalagala ekyatabudde baserikale...

Lukwago mu ddwaaliro e Nairobi.

Lwaki ab'e Nairobi batumizz...

OMUSAWO wa Erias Lukwago bamutumizza okugenda e Nairobi mu kiseera kino ‘omuloodi' gy'ajjanjabirwa. Dr. Hassan...

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...