TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abemmamba balabudde Minisita Beti Kamya ku by'ettaka ly'entebe za Mugula

Abemmamba balabudde Minisita Beti Kamya ku by'ettaka ly'entebe za Mugula

Added 26th June 2020

OMUTAKA Gabunga Zziikwa Mubiru IV alabudde minisita w’ettaka mu gavumenti eya wakati Betty Namisango Kamya nti abamulambuza ettaka okuli ekifo ekiyitibwa entebe za Mugula ekisangibwa ku kyalo Buyira mu kibuga ky’entebe nti tebalina buvunaanyizibwa bwonna ku kyo era amaanyi ge gakumufiira bwereere.

Gabunga Mugula

Gabunga Mugula






Obubaka buno yabuyisiza ku Lwokuna June 25,2020 nga yasinzidde mu maka ge e Kabowa mu ggombolola ya mukulu w'ekibuga Lubaga-Kyadondo n'agamba nti ekifo kino ekiriranye ekisaawe ky'ennyonyi entebe tekibeerangako kya kika ky'emmamba Kakoboza.

"Mu kika kya Nankere temuli Mugula. Waliwo ebintu byetutasana kumalirako biseera. Tewali ataakimanyi nti e Buyira,ettaka awatudde entebe za Mugula lya Bazzukkulu ba Gabunga. Kino tekyakatandika leero,"Gabunga bweyategezezza mu kiwandiiko kyefulumizza ekyamusomeddwa Andrew Benon Kibuuka omuwaandiisi w'ekika.

Kino kijjidde mu kiseera ng'abekika ky'emmamba Kakoboza nga bayita mu mwami Charles Sserwanja balambuza Minisita Kamya ekifo kino ku Lwokubiri June 23,2020 okwetegereza enkayana ezikirimu n'okulaba engeri gyeziyinza okugonjoolwamu.

Ow'essiga lya Mugula e Ntebe eritwala ekifo kino,John Lubuzibwa yategezezza nti nga Nankere tanasumusibwa okubeera ekika,yali wa ssiga nga Mugula bweyali n'olwekyo bweyafulibwa ekika yagenda n'emituba gye,enyiriri n'ebirala nga tewali mulundi nagumu gyayinza ate kugamba nti ekifo ky'entebe za Mugula kikye ng'ate kivunanyizibwako ow'omutuba Ttaka Kayiba e Buyira mu ssiga lya Mugula.

"Okubuzaabuza abazzukulu kususse nga kino kikolebwa abantu abeegwanyiza ebyaabwe. Mugula alina emituba mukaaga n'olwekyo nga tebalina webakwataganira n'aba Nankere era Minisita mulabula nti abo bamugenda kumutomeza," Lubuzibwa Mugula bweyategezezza.

Ab'ekisaawe ky'ennyonyi entebe bali mu nteekateeka z'okugaziya ekisaawe ky'entebe era ng'ekifo kino Entebe Za Mugula ekisangibwa e Buyira(okulirana ekisaawe ekiriwo kati) ky'ekimu ku bifo byebagala okukozesa. Kino kyaleesewo enkayana wakati w'abeddira Nankere n'abemmamba Namakaka bazzukkulu ba Gabunga.

Ow'essiga Mugula yazaala Kaggwe e Bukaggwe,(ekisaawe kya UN),Ttaka Kayiba e Buyira, Sserugunda e Bukibenga(awali ekisaawe ekikadde). Abawala yazaala Nankya e Musoli(kiri mabega w'ekisaawe ky'entebe), Nalwoga e Ssazi( nkyo kiri mu bitundu by'e Nakiwogo), Nagadya e Nkumba.

"Nsaba Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka Omutaka Kayiira Gajuule Kasibante ne Minisita w'ebyobuwangwa e Mmengo batuyite ne Nankere buli omu aleete obukakafu obulaga obwannanyinni bw'ettaka lino," Omutaka Gabunga bweyasabye.

Ttaka Kayiba ye mutaka avunanyizibwa ku by'obuwangwa mu ssiga lya Mugula era Lubuzibwa yajja mu buvunanyizibwa bw'essiga lino nga December 15, 2010 ng'adda mu bigere bya Livingstone Mugwanya Mugula owa 31.

Hajj Kitaka Kavvulu Ssalongo nga ye muwaandiisi w'Omutaka Nankere ow'ekyama yategezezza ng'essiga lya Mugula mu nnono ya Buganda bweriri mu kika ky'emmamba Kakoboza bwatyo neyebaza Kabaka olw'okuzaayo Obuganda ku kugoberera ennono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.

Bwino omulala ayiise ku bya...

BWINO omulala ayiise ng’abaali bakulira ekibiina kya NUP okuli eyali Pulezidenti waakyo, Moses Nkonge Kibalama...

Bambega ba poliisi bazizza Nuwashaba e Masaka gye yasaliddeko omwana Kyamagero omutwe.

Ssenga Meran Namatovu akwat...

EKITONGOLE ky'amagye ekikessi kikutte omukazi ateeberezebwa okupangisa omuvubuka eyasazeeko omwana omutwe n'agutwala...

Omugenzi Kaweesi

Munnamagye aleese bwino ku ...

MUNNAMAGYE eyadduka ayogedde ebyama ku batta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi ne Joan Kagezi amagye...

Abamu ku bamulekwa nga bateeka ekimuli ku ssanduuko y’omugenzi Batte (mu kato). Tunuza kkamera y’essimu yo ku kalambe akali ku kifaananyi olabe vidiyo.

Poliisi ezudde bokisi omuli...

EBIPYA bizuuse ku ttemu eryakoleddwa ku ddereeva wa sipensulo, Christopher Batte ow’e Seeta eyattiddwa abaamupangisizza....