TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda temukoowa kwekuuma Covid19 - Bp Tamale

Bannayuganda temukoowa kwekuuma Covid19 - Bp Tamale

Added 28th June 2020

OMULABIRIZI wa West Buganda Rt Rev Henry Katumba Tamale ayongedde okukubiriza Bannayuganda bagende mu maaso n'okussa mu nkola ebiragiro by'abasawo ne Pulezidenti ku nnekuuma y'akawuka ka Coronovirus.





Bp Tamale abyogeredde mu bubaka bwe bw'awadde mu kusinza okw'abantu abatono kw'akulembeddemu mu lutikko e Kako-Masaka n'annyikiza okwagala kwa Katonda eri abatondebe.

Ategeezezza nti wadde ng'Abasawo ne Bannasayansi bakyetakula emitwe okuzuulira eddagala ettuufu mu kuvumulira ddala ekirwadde kya COVID 19 n'abantu baabulijjo basigaze obukakkamu mu kuziba emiwaatwa gyonna egiyamba ssenyiga ono okusasaana.

Okusinza kwetabiddwamu Maama Bisopu Can Eliazeth Julia Tamale,Sub dean Can Gaster Nsereko,omuwandiisi Can Samue Mwesigwa,omuwanika Can Fred Matovu,Viica Rev Bakubanja n'abalala.

Bp Tamale yeebizza emikutu gy'amawulire okuli ne Bukedde olw'okusigala nga bayunze Obulabirizi n'abakristaayo gattako abantu abalala bukya muggalo gwa COVID 19 gutandika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...