TOP

Bobi akoze 'konsati' ku yintaneti n'ata akaka

Added 30th June 2020

BOBI Wine akoze “konsati” ku yintaneeti mw’asinzidde n’akolokota abaali bakola naye mu People Power, kyokka ne bamulyamu olukwe ne basala eddiiro.

Yabalumirizza okumukyusiza ebitala olwa ssente ze baabawa kyokka n'agamba nti baamuyamba ne bamuviira nnga bukyali singa tekyali ekyo teyandibategedde n'abeesiga mu bintu ebikulu ebijja mu maaso.

Yanokoddeyo Jenifer Full Figure ne Ashburg Kato abamwabulira ne bagenda mu NRM n'akibateekako nti baasooka ‘kubatemera' (okubasasula) ne basale eddiiro.

Yamenye n'abanene abalala mu gavumenti nti wadde baali mu bibiina bya njawulo baali ba mukwano naye bwe yayogera ku ky'okwesimba ku Bwapulezidenti tebaddamu kumwagala.

Yabalabudde nti abamu bamulaba ng'owa wansi kyokka banaagenda okuddamu okumulaba nga tebasobola na kutuuka w'ali. ‘Muliddamu okundaba nga ndi mu ntebe eyo ntudde….' Bwe yategeezezza ng'ayita mu nnyimba obwedda z'ayimba mu "konsati" eno eyabadde eweerezebwa ku mikutu gya yintaneti egy'enjawulo ku Ssande.

We bwazibidde eggulo nga "konsati" eno gye yategekedde ku mazzi e Busaabala ku bbiici ye wabula nga teriiko bawagizi nga yaakalabwa abantu 328,000 ku mukutu gwe ogwa Facebook ate ku gwa You tube nakwo baabadde bayitirivu era kw'asuubira okufuna ssente nga wayise omwezi.

Abantu abasinga baanyumiddwa n'ekyokuyimba ennyimba za Paul Kafeero ebbiri okuli Njagala okuddayo e Bukunja n'Olwa Dipo nnaziggala lwe yakyusa mu 2010 n'akolamu Ghetto nnaziggala.

Konsati eno eyategeddwa obulungi nga ttiimu ya Fire Base Crew esinziira ku One love Beach yamaze essaawa emu n'eddakiika 45 nga baasoose kuyimbira ku mazzi ne badda ku lukalu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...