TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eggalidde Nnaalongo puleesa ne zikuba Ssaalongo n'afiirawo

Poliisi eggalidde Nnaalongo puleesa ne zikuba Ssaalongo n'afiirawo

Added 30th June 2020

SSAALONGO ow’abakyala omunaana, puleesa zimukubye n’afiirawo nga poliisi eggalidde omu ku bakyala be mu kaduukulu.

Omugenzi Waiswa. Ku ddyo ye Nnaalongo

Omugenzi Waiswa. Ku ddyo ye Nnaalongo





Paul Waiswa Malevu 57, ng'abadde n'abaana 36 okuli n'emigogo gy'abalongo etaano, yafudde kawungeezi k'Olwakutaano lwa wiiki ewedde.

Dr. Mathias Mayanja mutabani w'omugenzi yategeezezza Bukedde nti kitaabwe alese abaana 36 newankubadde nga waliwo abagamba nti alina abaana abasingawo.

Emmanuel Kitimbo Mberenge, muganda w'omugenzi yategeezezza nti Waiswa yasiibye akola emirimu gye nga talabika kuba na buzibu kyokka akawungeezi bwe baamutegeezezza nti mukyala we, Sarah bamukutte yagezezzaako okumweyimirira poliisi n'egaana, puleesa ne zimukuba n'afa.

Mberenge yategeezezza nti Sarah baamukutte olw'ebigambibwa nti aliko abafere be yakolagana nabo ne bafera ku musuubuzi omu obukadde 14 ku Mobile Money. Waiswa abadde atawaanyizibwa puleesa ne sukaali ebyalinnye omulundi gumu n'akutuka.

Omusajja ono yatandikira mu kwasa mayinja mu kirombe n'agafunamu ssente n'atandika okusuubula mu Kamuli.

Omugenzi abadde yaakatunda emu ku poloti ze ku Crowford Road obukadde 350, wabula teyaziriddeko. Poloti eno eriraanye Century Hotel e Kamuli.

Mmisa eyakulembedde emikolo gy'okuziika yasomeddwa Bafaaza basatu okuva ku kigo ky'e Kamuli.

Kinajjukirwa nti mu 2016 waliwo mutabani we eyayiwa amafuta mu nnyumba mu bisenge n'agikumako omuliro ogwayonoona ebintu kyokka baagenda okumukebera ng'afunye obuzibu ku mutwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...