TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agafa ku bidduka: Laba omuggalo kye gukoze ebidduka!

Agafa ku bidduka: Laba omuggalo kye gukoze ebidduka!

Added 1st July 2020

Emmotoka ezifiira ku nguudo zeeyongedde obungi nga kigambibwa nti ekizibu kivudde ku bbanga eddene lye zaamala ku kkalantiini nga tezikkirizibwa kutambula.





Ben Mutagubya makanika ewa Mambule ategeezezza nti mmotoka buli lw'ee mala ebbanga nga tetambula  ku makya oba olina okugikoleezaamu okusobozesa woyiro okulinnya  bw'otokikola asoboola okwekwata mmotoka n'ebaako ebyuma by'eyonoona okuli pulaaga  n'ebirala.

Mmotoka bwoba tosobodde kugikoleezza buli ku makya oba olina okugiggyako bbaatuule ng'okuddamu okugivuga olina okukyusa woyiro , pulaaga , okussaamu  amazzi mu ladiyeeta , okukebera ku   bbuleeke fuluyidi.

Mmotoka bw'emala ebbanga nga tetambula oba olina okugissaamu amafuta agawerako okusoboola okukuuma ttanka obutatalagga kuba obutalavvu bwonoona pampu, n'akasengejja,  firita era abangi wano we baafunye obuzibu.

Bw'oba mmotoka obadde togikoleezaamu buli ku makya kivaako ekizoosi  okutalagga munda lw'oddamu okugivuga kigyanguyira okufuna ebituli n'etandika okuvuuma obubi n'okunywa ennyo amafuta , kale kyandibadde kirungi mmotoka okusooka okugitwala mu ggalagi  ne bagyekebejja okwewala okufuna obuzibu ku luguudo .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...