TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Masaka City etongozeddwa wakati mu kusika omuguwa

Masaka City etongozeddwa wakati mu kusika omuguwa

Added 1st July 2020

WADDE nga wazzeewo okusika omuguwa mu kutongozebwa kw'ekibuga Masaka ekyafuuliddwa CITY tekirobedde bakulembeze kukitongozza era batandikiddewo emirimo nga bwe baalambikiddwa minisita wa Gavumenti ez'ebitundu, Raphel Magyezi.

Omubaka wa Gavumenti e Masaka Herman Ssentongo n'abakungu abalala batongozza City nga basinziira mu maaso ga ofiisi za Meeya Godfrey Kayemba Afaayo mu Masaka.

Kayemba Afaayo ono afuukiddewo Loodi meeya ow'ekiseera atwala Munisipaali esattu ezaatondeddwawo mu City eno okutuusa mu kulonda kwa 2021 nga bwe kiri mu nnambika ya Magyezi.

Kyokka Ssentebe wa LCV e Masaka Jude Mbabaali n'abamukiririzaamu bawakanyizza ennambika eno nga bagamba nti wanditeereddwawo okulonda okw'amangu ne bawa abakiise bonna okulondawo obukulembeze obw'ekiseera.

Meeya Kayemba Afaayo akkiriziganyizza n'abakungu abalala nti tebayinza kunaanyiza mu kirooto kyabwe ekyatuukiridde oluvannyuma lw'emyaka n'ebisiibo nga basabirira Masaka okufuna City n'asaba bakulembeze banne bazze ku bbali obusongasonga bwe bekwasa batambuze ekibuga kyabwe.

Loodi Meeya Kayembaafaayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...