TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekkubo litabudde meeya Kagimu ne ssentebe w'ekyalo

Ekkubo litabudde meeya Kagimu ne ssentebe w'ekyalo

Added 2nd July 2020

Ekkubo lyatabudde meeya wa munisipaali y’e Mukono, George Fred Kagimu n’abatuuze abakozesa ekkubo eriyita okumpi n’ekifo kye ekisanyukirwamu era ekibeeramu emmotoka z’empaka ekya Festino City.

Kagimu ku kkono ng'awaanyisiganya ebisongovu ne ssentebe Ssebunya ku ddyo.

Kagimu ku kkono ng'awaanyisiganya ebisongovu ne ssentebe Ssebunya ku ddyo.







Abatuuze nga bakulemberwamu ssentebe w'ekyalo kya Ntaawo DFI, John Ssebunya ku Lwokubiri baalumbye ekkubo lye baagambye nti meeya Kagimu yabadde aliyiyeemu ettaka n'ekigendererwa eky'okuliziba ng'era lino libadde terikyasobola kuyisa mmotoka nga liyisa bodaboda na batambuza bigere bokka.

Bano baabadde bakyayogera eri ab'amawulire n'okulaga obutali bumativu bwabwe eri meeya Kagimu gwe baagambye nti wadde abatuuze baawaayo ettaka eriyitamu ekkubo lino ku bwereere nga naye tannaba kugula kifo kino, beesanze ng'ebbanga lyonna azze abalemesa okulikola nga ne bwe basaba ttawunu kiraaka liggulwe ng'ono abasaba basooke bakkaanye ne Kagimu bbo kye bawakanya kuba taliyinaako buvunaaanyizibwa lya kyalo.

Maneja wa Festino Deo Ssempala yalabye abatuuze bongera kukungaana kwe kukubira Kagimu amasimu ag'oluleekereeke okutuusa lwe yatuuse nga tasalikako na musale.

Ssebunya (ku kkono) ne meeya Kagimu (wakati) nga bawaanyisiganya ebigambo mu kifo ewaayiiriddwa ettaka.

Meeya Kagimu yatuuse ayambalira ssentebe Ssebunya era kaabuze kata bagwangane mu malaka nga buli omu asonga mu munne ennwe n'okweyogerera ebisongovu.

Yavunaanye Ssebunya okutandika okumusalako ebigambo nga bwe yabadde azibye ekkubo kye yagambye nti tekyabadde kituufu kuba ye ekyamuyiisizza ettaka mu kifo kino ng'aluubirira kulikola ate si ku ssente za gavumenti wabula wabula ezize ng'omuntu.

Ye Ssebunya yagambye nti Kagimu n'abantu be abakola ku Festino babadde baayiye ettaka mu kkubo lino nga tebalina gwe bategeezezzaako wadde ye nga ssentebe w'ekyalo ekyaviiriddeko abatuuze okutandika okumubuuza ekigenda mu maaso nga naye takitegeera.

Meeya Kagimu ne Ssebunya mu kifo ekyavuddeko obuzibu olw'okuyiwamu ettaka.

Ssentebe yagambye nti eby'embi kwe kuba ng'ate n'ekkubo eddene eriva ku luguudo olugenda e Jinja ku ky'e Ntawo okudda ku NARO n'okweyongerayo nalyo mu kiseera kino baalizibye nga bakola omugga ogubadde gwabomoka nga kati wano abatuuze we babadde bayitira Kagimu ate ne yeekobaana n'ayiwawo ettaka ng'emmotoka tezikyayita ekitali kituufu.

Bano bawaanyisiganyizza ebisongovu ssentebe Ssebunya n'atuuka n'okusaba meeya Kagimu amwetondere ng'agamba nti yabadde amwogeddeko kalebule nga bwe yasolooza ssente mu bantu wabula nga meeya yeeremye n'agaana okwetonda wadde okubimenyawo.

Kagimu mu kwogerako ne Bukedde yeegaanye ebibadde byogerebwa Ssebunya n'agamba nti talina kigendererwa kiziba kkubo lino nti yayiye ettaka mu kifo kino ng'ayagala kukola kkubo lino.

Ddifensi w'ekyalo kino Henry Musoke yannyonnyodde nti ekkubo lino lyaliwo dda ng'okuliziba kiba kikyamu kuba liyamba nnyo abantu ng'ate abatuuze be baaliwaawo nga tebasasuddwa wadde ennusu.

Meeya Kagimu ne Ssebunya mu kifo ekyavuddeko obuzibu olw'okuyiwamu ettaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...