TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssekandi ayozaayozezza Bannamasaka okusajjakula ne bafuuka 'City'

Ssekandi ayozaayozezza Bannamasaka okusajjakula ne bafuuka 'City'

Added 2nd July 2020

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ayozaayozezza Bannamasaka okusajjakula ne bafuna City nga ne disitulikiti yaabwe bagisigazza.


Ssekandi asinzidde ku mukolo gw'abeggombolola y'e Kyesiiga gwe bajagulizaako emyaka 9 bukya beetongola okuva ku y'e Kyannamukaaka. 

Gwe bayingiriddeko n'amaka gaabwe amapya nga bava mu bupangisa mwe bamaze emyaka gino.  

Munnamateeka Ssekandi abugiriziddwa eyaliko omubaka wa Masaka mu Paalamenti Gaalo Mubanda Nanziri Kasse.

Sipiika w'eggombolola Mudasiru Bbaale yabaddewo ku lwa Ssentebe wa LCIII Wilberforce Kalyango. 

Ssekandi ne Mubanda basizza kimu nti bulijjo baagalizza Masaka okufuna City ate n'okusingaza Masaka nnakazadde wa disitulikiti endala munaana be ddu. 

Okuva Pulezidenti lwe yakkirizza Masaka okufuna City waggyawo okukubagana empawa kunsalo zaayo. 

Abamu baasemba eky'okugggyirawo ddala disitulikiti ya Masaka nti olwo amagombolola gafuulibwe Division.

Ssekandi ne Mubanda bagambye nti bo babadde ku ludda lw'abaawagira eky'okusiimulawo Masaka disitulikiti kuba ya byafaayo. 

Ssekandi agumizza aba Masaka enkadde nti emyalo gye balina ku nnyanja Nalubaale gibasobozesa okufunamu emisolo egibayimirizaawo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...