TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Atwine alagidde eddwaliro ly'e Kayunga litandike okukozesebwa

Dr. Atwine alagidde eddwaliro ly'e Kayunga litandike okukozesebwa

Added 2nd July 2020

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba abalwadde.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro





Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr. Diana Atwine alambudde eddwaliro okulaba omulimu we gutuuse n'asiima omutindo eddwaliro kwe lizimbiddwa.

Eddwaliro lino eriwemmense obukadde bwa doola 16 baliddaabirizza n'okuligaziya era nga lyakujjanjaba endwadde zonna omuli n'ezamaanyi.

Mu kiseera eky'okuzimba eddwaliro libadde terikola nga abamu babajjanjabira mu kibaati kye baakubawo ate abalala babadde basindikibwa mu bulwaliro nga Kangulumira ne Ntenjeru.

Eddwaaliro lya Kayunga eryaddaabiriziddwa

Dr. Atwine asiimye aba Arab contractors olw'omutindo ogwa waggulu kwe bazimbidde eddwaliro ly'e Kayunga.

Alagidde abakulira eby'obulamu balondemu ebifo ebimu batandike okujjanjabiramu abantu nga bwe bakyalinda ebyuma ebirala okutuuka n'okuggulawo eddwaliro mu butongole.

Ssentebe wa disitulikiti Tom Sserwanga asabye minisitule y'ebyobulamu erowooze ku ky'okwongera eddwaliro lino ssente ezikozesebwa kubanga liteekeddwamu ebintu bingi eby'omulembe.

Wabula Dr. Atwine agambye nti minisitule y'ebyensimbi baagituukirira dda okwongera ku nsimbi eziwerezebwa ku ddwaliro kubanga balina n'enteekateeka okulisuumusa lituuke ku ddaala lya "refurral".

Eddwaliro lyaziyiziddwa ne liva ku bitanda 100 kati lya bitanda 198 era n'enyumba z'abasawo kati ziri 118 kubanga abasawo baakweyongerako omuwendo.

Dr. Atwine yagambye nti eddwaliro lino balyongeddeko ebintu bingi omuli ne "intensive care unit", theater ssatu n'ebiralala era kati baamaze okutegeeza miniistule y'ebyensimbi eryongere ssente lisuumusibwe kubanga ssente obukadde 400 ze libadde lifuna tezikyamala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...