TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala atuuyanidde mu ofiisi ya LC omulenzi bw'amulumirizza okumubbako ssente ze

Omuwala atuuyanidde mu ofiisi ya LC omulenzi bw'amulumirizza okumubbako ssente ze

Added 2nd July 2020

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala wakati n’amukunguzza mpaka mu wofiisi y’ekyalo.

Phiona Kyomuhangi, omutuuze w'e Lungujja kyokka ng'olumu yeeyita Rashidah ye yakiguddeko oluvannyuma Shafic Gayi okumulumiriza okumubbira ensimbi ze bwe yamulekera ebisumuluzo by'ewuwe ng'aliko bye yalina okumukolera kyokka n'amubba.

Gayi yategeezezza aba LC ya Owino View, abaabadde bakulembeddwamu ssentebe Farouk Kato Ssekabembe nga bw'aludde nga anoonya omuwala ono nti kyokka essimu ze zonna abadde yaziggyako nga ate ne kumulimo weyali akola nga tebakyakola olw'omuggalo.

Ono yasabye ab'akakiiko bamuyambe omuwala ono amusasule ssente n'ategeeza nti ekyabadde kisinga okumuluma kwekuba nti omuwala ono yabadde agezaako okwebuzabuza nga bw'atalina ky'amanyi ku bya ssente ze.

Mu ku nyonnyola,Gayi,yategeezezza nti yabadde atambula n'agwikiriza Rashidah ku ka Mobile Money n'amanya nti ebibye biwedde.

Waabaddewo okuwanyisiganya ebisongonu wakati w'ababiri bano nga omuwala alinga agamba nti omulenzi teyali tuuse kwekyo olw'enkolagana gyebalina kyokka nga byonna omulenzi tabiwuliriza nga ayagala kimu ssente ze.

Bano batutte akabanga nga bakaayana wakati mu muwala okwegaana nga bwatali yadde ky'amanyi ku ssente za Gayi,kyokka yavudde ddaaki ne yeegayirira bamukkirize asasuleko emitwalo 180,000/= ng'agamba nti yabadde aliko omulimo gw'afunye mu woteeri nga ajja kusobola kuzisasula mu myezi ebiri.

Bino Gayi teyasoose kubikkiriza nga agamba omuwala yabadde aggye ssente ku Mobile Money kyonna omuwala n'alayira nga bwe yabadde talina yadde ekikumi era n'abalaga mesegi ya Mobile Money nga eraga nga bweyabadde aggyeyo 4000shs zokka.

Aba LC, nga bakulembeddwa Ssentebe wa Owino View,Farouk Ssekabembe Kiberu,baasabye Gayi akkirize okusaba kw'omuwala ono wadde nga yabadde abuzabuza ne babakozesa endagaano ng'omuwala ono akakasa nga bwe yakkirizza okusasula Gayi.

Ye Ssentebe Kato, yasinzidde wano n'alabula abavubuka okukomya omuze gw'okulonderera abawala mu makubo n'ategeeza nti bino bivuddemu ebizibu bingi nnyo ensangi zino era n'alabula n'abaana abawala okubeera abagumiikiriza mu buli mbeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...