TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyabula kati emyezi ebiri yeeraliikirizza abazadde

Eyabula kati emyezi ebiri yeeraliikirizza abazadde

Added 2nd July 2020

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba nti oba waliwo ekikyamu ekyamutuukako!

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Matia Lubega eyabula ku bakadde be




Matia Lubega 18, ng'ono aliko ekikyamu ku mutwe, yabula ku nnyina Gertrude Namayanja nga 10/05/20,  yabulira mu katale k'omu Ndeeba gye yali akolera ne nnyina, okuva olwo talabikanga.

Namayanja agamba; Lubega yava wenkolera mu Ndeeba mu katale n'atambula n'agenda nga ndowooza atambulabutambuzi nga bulijjo,  naye okuva olwo taddanga, nakamda kulinda nga ssimulaba ne ntandika okunoonya nga ssiraba.

Nagendako ku poliisi zonna ezituli okumpi nga talabika ne nzigulawo fayiro y'okubula kwe ku poliisi mu Ndeeba, naye nabo n'okutuusa kati tebamulabanga, ntuuse buli wamu, ku poliisi ez'enjawulo naye omwana wange abuze. 

Lubega aliko ekikyamu ku bwongo, naye okuva lwe yazaalibwa mbadde naye nga tabulangako, ekintiisizza nti oba waliwo ekikyamu ekyamutuukako, nsaba aba amulabyeko yenna amutwale Ku LC oba poliisi emuli okumpi oba ankubireko ku nnamba zange zino;  0701 915 880, 0784 387 578.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...