TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka ya Poliisi ebadde egobagana n'owa bboodabbooda ekoonye bbebi n'egenda bugenzi!

Mmotoka ya Poliisi ebadde egobagana n'owa bboodabbooda ekoonye bbebi n'egenda bugenzi!

Added 3rd July 2020




Bino bibaddewo ku ssaawa ssatu ez'okumakya ga leero ku Lwokutaano e Kabowa we bayita ku katale ka Kidomoole ku luguudo lwa Ssuuna Road olumanyiddwa ng'olwa Diniya, patrol ebadde eya langi enzirugavu ebadde eva mu Ndeeba okudda e Wankuluku .

Esanze owa bboodabbooda atisse omusaabaze ne bamugoba okumukwata, wabula  naye n'abatebuka n'ayongera sipiidi, mu kumugoba baagadde okusimba patrol ebbali bamugobe n'ebigere, eno gye basanze omwana Maria Namutunzi ow'emyaka 3 abadde ne nnyina ku katale w'akolera okumpi n'ekkubo ne bamukoona.

Olutegedde nti bakoonye omuntu,Patrol ezizzaako buzza n'edduka neyeeyongerayo, nyina w'omwana Sarah Namulindwa agambye nti, Patrol ebaddeko abaserikale mukaaga emabega  nga bambadde yunifoomu z'ebibomboola bya bbulu nga ne mu maaso eriyo babiri, nti kyokka ekibewuunyisizza olutegedde nti bakoonye omuntu bavuzi buvuzi ne badduka.

Omwana addusiddwa mu kalwaliro ka Beta life Medical Center e Wankulukuku okufuna obujjanjabi obusookerwako, ng'eno bakizudde ng'omwana avuddemu amannyo mukaaga ssaako okufuna ebisago ku mutwe.

Abasawo babalagidde okwongerayo omwana mu ddwaaliro eddene akubwe ebifaananyi ku mutwe  okulaba oba waliwo obuvune obulala  bw'afunye, era omwana ali mu bulumi obutagambika ng'agamba nti buli wamu wamuluma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...