TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssemaka atiisizza okutta mukazi we lwa kuzaala balongo

Ssemaka atiisizza okutta mukazi we lwa kuzaala balongo

Added 3rd July 2020

Apoo (ku kkono) n’abaana be. Ku ddyo ye Kamuli.

Apoo (ku kkono) n’abaana be. Ku ddyo ye Kamuli.

SSEMAKA yeeweredde okutta mukazi we lwa kugaana kuggyamu lubuto lwa balongo.

Obutakkanya buno buli wakati wa Nnaalongo Christine Apoo ne bba, Emorut Abunyanga, omukuumi mu kkampuni ya Security Plus, nga batuuze b'e Mbuya Centre Zooni e Nakawa.

Apoo yaddukidde wa Nabakyala wa zooni eno, Grace Kamuli n'amutegeeza nga bba bw'ayagala okumutusaako obulabe olw'okuzaala abalongo nga ye tabetaaga nti era yamudduseeko n'amwerera n'okumutta.

Apoo agamba nti amaze ne bba emyaka 10 nga balina abaana basatu okuli n'abalongo. Agamba nti baali batera okufuna obutakkaanya naye ne babugonjoola kyokka bwe yafuna olubuto lw'abalongo omwaka oguwedde ne buttuka.

Emurot yamulagira aluggyemu kubanga yali tabaagala kyokka nagaana, nga wano we yatandikira okumukuba. Yaddukira ewa Kamuli eyamusindika ku poliisi y'e Kinnawataka kyokka bwe baayita bba n'agaana okugendayo.

Yagaana okumulabirira mu kiseera ky'olubuto nga bwe bamusasula ssente azimalira mu kirabo kya mwenge. Ensonga yazitwala ku poliisi ya Jinja Road ne bagezaako okuzigonjoola, Emurot n'akkiriza okumulabirira kyokka bwe waayitawo ennaku nga bbiri naddamu okumuyisa obubi.

Annyonnyola nti olw'okuba yali talya bulungi, yazaala abaana nga tebannatuka, nga kati baawezezza emyezi naye tebalina buyambi.

Yagambye nti nga June 21, Emurot yakomyewo n'amusaba ssente z'awaka kyokka namutegeeza nga bwatazirina kwe kusalawo okumugoberera mu kirabo ky'omwenge gye yabadde egenze, wabula n'amukubirayo, era aba LC1 n'abatuuze a bebamutaasa.

Yayingira mu nnyumba nayambala engoye ze ez'omulimu n'abategeeza nga bwe yali agenze okufuna emmundu amutte kubanga yali amukooye, bwatyo yasalawo obutasula mu nnyumba nga atya okuttibwa.

Yaddukira ku poliisi ye Kinawataka, kyokka bwe baakubira Emurot yabategeeza nga bwe yali agenze ewaabwe e Komoro - Amuria, n'amugamba anoonye engeri gy'alabiriramu abaana be. Baamuggulako omusango ku SD.REF:19/21/06/2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...