TOP

NRM tennakkaanya ku by'okulonda

Added 3rd July 2020

AKAKIIKO ka NRM akafuzi ak’oku ntikko (CEC) kakyalemeddwa okukkaanya ku ngeri gye bagenda okutegakamu okulonda kw’ekibiina nga bagoberera ebiragiro bya minisitule y’ebyobulamu.

Mulindwa

Mulindwa

Olukiiko lwa CEC olwatudde ku Lwokusatu lwalemeddwa okukkaanya ku ngeri y'okusimba ennyiriri emabega w'omuntu gye kinaakolebwamu. Ensonda zaategeezezza nti ensonga y'abalonzi okusimba mu migongo nga balonda nga tebeeriraanye kikyaliko okusika omuguwa.

Wadde ng'abamu bandyagadde okulonda kukyusibwe kubeera kwa kusuula kalulu ka kyama, kino tekisoboka kuba kibeera kyetaagisa okukyusa Konsitityusoni y'ekibiina.

Olukiiko lw'ekibiina ttabamiruka lwe lulina obuyinza okukyusa eby'okulonda. Olwasemba okubaayo mu January lwe lwakyusa ennonda ne bateekamu eky'okusimba ennyiriri.

Ekizibu nti olukiiko ttabamiruka lwetabwamu abantu abasukka 10,000, ekikontana n'ebiragiro ebikugira abantu okukuhhaana. Ttabamiruka addako yali alangiriddwa nti waakubeerawo mu May, kyokka ne kitasoboka olw'ekirwadde kya Corona.

Ekirala ekikyabasibye enkalu kwe kubeera ng'olukiiko ttabamiruka lwokka lwe lulina obuyinza okuwanda eddusu ku muntu alina okukwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa Pulezidenti okwa 2021.

Rogers Mulindwa, omwogezi wa NRM, yagambye nti olukiiko lwa CEC terwamalirizza ngeri gye bagenda kulondamu oluvannyuma lw'okufuna amawulire nga Gavumenti bweriko amateeka g'egenda okutwala mu Palamenti agagenda okuyamba ebibiina by'obufuzi okutegeka okulonda okw'omuntu nga tebamenye mateeka.

Yagambye nti oluvannyuma akakiiko kajja kuddamu okutuula ng'amateeka gamaze okwanjulwa mu Palamenti.

Olukiiko lwa CEC lwayisizza amannya g'abantu bonna abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw'enjawulo ku kitebe kya NRM. Abaakakasiddwa kuliko; Jacqueline Kyotuhaire (mumyuka w'omuwanika, Mathias Kasamba (dayirekita w'okukunga abantu), Emmanuel Dombo (dayirekita w'ebyamawulire) ne Hajjat Medina Naham, dayirekita w'ebyensimbi.

Akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga kaafulumya dda entegeka zaako ne kalaga nti ebibiina by'obufuzi byonna birina okukozesa wakati wa June 22 okutuuka July 21, okusunsuliramu abagenda okubakwatira bendera ku bifo eby'enjawulo.

Bukedde yakitegeddeko nti olukiiko lwa Kabineeti olwatudde ku Lwokubiri olwakubiriziddwa Pulezidenti Museveni, lwasazeewo nti tewali kulangirira biseera by'akabenje wadde okwongerayo okulonda, ng'amaloboozi agamu bwe gasaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...