TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnamagye eyayambako okuleeta NRM mu buyinza afudde

Munnamagye eyayambako okuleeta NRM mu buyinza afudde

Added 3rd July 2020

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta NRM mu buyinza afudde kookolo.

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Yafiiridde mu ddwaaliro ly'e Nakasero ku Lwokuna kumakya gy'abadde ajjanjabirwa. Namwandu Winnie Mukasa, yategeezezza Bukedde nti bba aludde ng'atawaaanyizibwa Kookolo w'omu magumba okuva 2014.

Yagambye nti abadde yaakagenda e Buyindi emirundi ebiri nga bamulongoosa era w'afiiridde nga waakayita ekiseera kitono ng'avuddeyo. Mukasa afudde tegunnaba kuwera mwezi nga Maj. Gen. Kasirye Ggwanga afudde.

Gen. Mukasa abadde munnansiko mu lutalo lwa NRA olwaleeta NRM mu buyinza era w'afiiridde nga y'akulira embeera z'abajaasi mu ggye ery'okuttaka. Yeegatta ku NRA mu 1982 ne balwana olutalo okuluwangula.

Yalwana olwa Joseph Konyi ne banne bamwogerako lwe yakola misoni ey'omutawaana n'omujaasi omulala ebweru w'eggwanga ne bataasa Uganda okudda mu kiyiwa musaayi.

AKUBA EMMUNDU OKUWAMBA KABAMBA

Maj. General Elly Kayanja eyasangiddwa mu maka g'omugenzi e Kagoma mu ggombolola y'e Gombe, disitulikiti y'e Wakiso, yategeezezza nti Mukasa yakola omulimu munene mu kulwana e Ngoma mu Nakaseke.

Yamutenderezza olw'okukwata emmundu ennene okukuba e Kabamba nga bawamba kubanga ye yakuba emmundu eyasisimula omulabe n'awanika. Col. Boogere nga naye munnamagye eyawummula aludde ng'akolagana ne Mukasa yagambye nti Mukasa abadde mukwano nnyo.

"Mukasa abadde munywanyi wange nnyo era mulwanyi munnange, yali musuubuzi era ng'alina ggaragi emu e Wandegeya n'okutuusa kati ekyaliyo," Boogere bwe yagambye.

EKYAMUVIIRAKO OKUYINGIRA AMAGYE

Mukasa yali musuubuzi ng'agenda e Nairobi kyokka Obote n'abeekengera nti bakolagana n'abayeekera n'abakwata n'abaggalira. Mukasa olwava mu kkomera n'asalawo okwegatta ku bayeekera era yasooka kukwatagana n'ekibinja kya UFM ekya Lutaakome Kayiira.

YEEGATTA KU NRA

Yagenda okulaba nga tebimutambulira bulungi n'akwata abaserikale be n'avaayo ne yeegatta ku NRA mu 1982.

Yalwana era n'aweebwa okuduumira ebibinja eby'enjawulo e Ssingo n'akola ennumba nnyingi ze yawangulanga n'amegga omulabe.

Eyo gye twava okulwana okujja okuwamba Kampala ne tukwata obuyinza, yaweebwa obuvunaanyizibwa okubeera omumyuka wa dayirekita w'ebyentambula mu magye.

Ekiseera ekyo yali mumyuka wa Col. Frank Kaka Bagyenda. Abayeekera ab'enjawulo bazze balumbagana Uganda era Alice Lakwena ne Joseph Kony bwe baasitula enkundi, Gen. Mukasa yakola omulimu munene mu kulwanyisa abayeekera abo.

Bwe nnali dayirekita avunaanyizibwa ku bikozesebwa mu magye (Director Military Equipment) ye yali omumyuka wange. W'afiiridde nga yaavunaanyizibwa ku mbeera z'abaserikale mu magye ag'okuttaka.

Mujjukirako ebintu ebyenjawulo bingi bye twakola nga bisaana omuntu asobola okwewaayo ennyo kubanga byabeeranga bya kutunda mwoyo. Olumu nze naye twagenda ku misoni emu ebweru wa Uganda ne tugikola ne tugimaliriza era yayamba nnyo okutaasa eggwanga lino okudda mu kiyiwa musaayi.

MAJ. GEN. SAMUEL KAWAGGA:

Gen. Mukasa abadde musajja mukkakkamu era nga wa mpisa, ayagaliza abalala era eyalwanirira ennyo okuleeta emirembe mu ggwanga. Yakola omulimu munene nnyo mu kununula eggwanga wabula tetuyinza kuvaayo kugamba nti ye ng'omuntu ye yakola eky'enjawulo yekka kubanga amagye gakolera wamu.

Wabula bwe twamubuuzizza ku bigambibwa nti Mukasa afudde akukkuluma waliwo lwe baamuteeka ku katebe ng'omusajja omulwanyi ne kimunyigiriza. Kawagga yategeezezza Bukedde nti ekyo takimanyangako kubanga ekiseera kyonna abadde amulaba mu buweereza obwenjawulo.

"Nze bwe nnali omuduumizi w'ekibinja mu bukiikakkono bwa Uganda, Mukasa ye yali avunaanyizibwa ku by'okwambaza abaserikale" Kawagga bwe yaggumizza. Azze akuzibwa mu magye ng'abalala era w'afiiridde ng'ali ku ddaala lya Major General.

FAMIRE EYOGEDDE

Okusinziira ku Namwandu, Mukasa alese abaana 21 era amwogerako nti abalekedde eddibu ddene kubanga abadde agatta nnyo famire. Yeebazizza Pulezidenti Museveni abawadde obuyambi ng'ayita mu Maj. Gen. Proscovia Nalweyiso abadde amutegeeza buli ekigenda mu maaso ku bulamu bwa Mukasa.

Capt. Faith Nabitake yategeezezza nti kitaawe buli muntu abadde amutegeera bubwe kubanga abadde akuhhaanya abantu bonna nga kumpi alabirira abooluganda ne booyinza okulowooza nti bamuli walako.

MUNNAMAGYE omulala, Maj.
Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba
emmundu okuwamba enkambi
y'e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta
NRM mu buyinza afudde
kookolo.
Yafiiridde mu ddwaaliro ly'e
Nakasero ku Lwokuna kumakya
gy'abadde ajjanjabirwa. Namwandu
Winnie Mukasa, yategeezezza
Bukedde nti bba aludde
ng'atawaaanyizibwa Kookolo
w'omu magumba okuva 2014.
Yagambye nti abadde yaakagenda
e Buyindi emirundi ebiri
nga bamulongoosa era w'afiiridde
nga waakayita ekiseera kitono
ng'avuddeyo. Mukasa afudde tegunnaba
kuwera mwezi nga Maj.
Gen. Kasirye Ggwanga afudde.
Gen. Mukasa abadde munnansiko
mu lutalo lwa NRA olwaleeta
NRM mu buyinza era w'afiiridde
nga y'akulira embeera z'abajaasi
mu ggye ery'okuttaka. Yeegatta
ku NRA mu 1982 ne balwana
olutalo okuluwangula. Yalwana
olwa Joseph Konyi ne banne
bamwogerako lwe yakola misoni
ey'omutawaana n'omujaasi
omulala ebweru w'eggwanga
ne bataasa Uganda okudda mu
kiyiwa musaayi.
AKUBA EMMUNDU
OKUWAMBA KABAMBA
Maj. General Elly Kayanja
eyasangiddwa mu maka
g'omugenzi e Kagoma mu ggombolola
y'e Gombe, disitulikiti y'e
Wakiso, yategeezezza nti Mukasa
yakola omulimu munene mu
kulwana e Ngoma mu Nakaseke.
Yamutenderezza olw'okukwata
emmundu ennene okukuba e
Kabamba nga bawamba kubanga
ye yakuba emmundu eyasisimula
omulabe n'awanika.
Col. Boogere nga naye munnamagye
eyawummula aludde
ng'akolagana ne Mukasa yagambye
nti Mukasa abadde mukwano
nnyo. "Mukasa abadde munywanyi
wange nnyo era mulwanyi
munnange, yali musuubuzi era
ng'alina ggaragi emu e Wandegeya
n'okutuusa kati ekyaliyo,"
Boogere bwe yagambye.
EKYAMUVIIRAKO
OKUYINGIRA AMAGYE
Mukasa yali musuubuzi
ng'agenda e Nairobi kyokka
Obote n'abeekengera nti bakolagana
n'abayeekera n'abakwata
n'abaggalira. Mukasa olwava mu
kkomera n'asalawo okwegatta ku
bayeekera era yasooka kukwatagana
n'ekibinja kya UFM ekya
Lutaakome Kayiira.
YEEGATTA KU NRA
Yagenda okulaba nga
tebimutambulira
bulungi n'akwata
abaserikale
be n'avaayo
ne yeegatta ku
NRA mu 1982.
Yalwana era
n'aweebwa
okuduumira
ebibinja
eby'enjawulo e
Ssingo n'akola
ennumba nnyingi
ze yawangulanga n'amegga
omulabe.
Eyo gye twava okulwana okujja
okuwamba Kampala ne tukwata
obuyinza, yaweebwa obuvunaanyizibwa
okubeera omumyuka
wa dayirekita w'ebyentambula
mu magye. Ekiseera ekyo yali
mumyuka wa Col. Frank Kaka
Bagyenda.
Abayeekera ab'enjawulo bazze
balumbagana Uganda era Alice
Lakwena ne Joseph Kony bwe
baasitula enkundi, Gen. Mukasa
yakola omulimu munene mu
kulwanyisa abayeekera abo.
Bwe nnali dayirekita avunaanyizibwa
ku bikozesebwa mu
magye (Director Military Equipment)
ye yali omumyuka wange.
W'afiiridde nga yaavunaanyizibwa
ku mbeera z'abaserikale mu
magye ag'okuttaka.
Mujjukirako ebintu ebyenjawulo
bingi bye twakola nga bisaana
omuntu asobola okwewaayo
ennyo kubanga byabeeranga
bya kutunda mwoyo. Olumu nze
naye twagenda ku misoni emu
ebweru wa Uganda ne tugikola
ne tugimaliriza era yayamba nnyo
okutaasa eggwanga lino okudda
mu kiyiwa musaayi.
MAJ. GEN. SAMUEL KAWAGGA:
Gen. Mukasa abadde musajja
mukkakkamu era nga wa mpisa,
ayagaliza abalala era eyalwanirira
ennyo okuleeta emirembe mu
ggwanga. Yakola omulimu
munene nnyo mu kununula
eggwanga wabula tetuyinza kuvaayo
kugamba nti ye ng'omuntu
ye yakola eky'enjawulo yekka
kubanga amagye gakolera wamu.
Wabula bwe twamubuuzizza ku
bigambibwa nti Mukasa afudde
akukkuluma waliwo lwe baamuteeka
ku katebe ng'omusajja
omulwanyi ne kimunyigiriza.
Kawagga yategeezezza Bukedde
nti ekyo takimanyangako
kubanga ekiseera kyonna abadde
amulaba mu buweereza obwenjawulo.
"Nze bwe nnali omuduumizi
w'ekibinja mu bukiikakkono bwa
Uganda, Mukasa ye yali avunaanyizibwa
ku by'okwambaza
abaserikale" Kawagga bwe yaggumizza.
Azze akuzibwa mu magye
ng'abalala era w'afiiridde ng'ali
ku ddaala lya Major General.
FAMIRE EYOGEDDE
Okusinziira ku Namwandu,
Mukasa alese abaana 21 era
amwogerako nti abalekedde
eddibu ddene kubanga abadde
agatta nnyo famire. Yeebazizza
Pulezidenti Museveni abawadde
obuyambi ng'ayita mu Maj. Gen.
Proscovia Nalweyiso abadde
amutegeeza buli ekigenda mu
maaso ku bulamu bwa Mukasa.
Capt. Faith Nabitake yategeezezza
nti kitaawe buli muntu
abadde amutegeera bubwe
kubanga abadde akuhhaanya
abantu bonna nga kumpi alabirira
abooluganda ne booyinza
okulowooza nti bamuli walako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....