TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eyimirizza NEMA okugoba ab'e KansangaAgambibwa

Kkooti eyimirizza NEMA okugoba ab'e KansangaAgambibwa

Added 3rd July 2020

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole ky’obutonde bw’ensi ekya NEMA obutabagoba ku ttaka okutuusa omulamuzi lw’anaawulira omusango gwabwe.

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.





Ebbaluwa ya NEMA eya nga June 8, 2020 gye yawandiikira abatuuze b'e Kansanga naddala aba zzooni ya Luwafu B ne Heritage zzooni, yabawa ennaku 21 nga bavudde ku ttaka ng'ensonga enkulu ebagobyako ya kwonoona lutobazzi lw'e Kansanga nga balusimamu emyala, bazimbako ebizimbe n'okuluyiwako ettaka lya malamu.

Ennaku ezaabaweebwa zibadde ziggwaako ku Lwokutaano lwa wiiki eno. NEMA yabawa ebiragiro nti bave ku ttaka mu nnaku ze babawadde, ettaka balizzeewo nga bwe lyali n'ebizimbe bye baazimbako bimenyebwewo.

Bano baalabye NEMA ebafuukidde akayinja mu ngatto kwe kuddukira mu kkooti enkulu ewulira ensonga z'ettaka ne baggulawo omusango.

Ku Lwokusatu baasiibye ku kkooti nga balinda okufuna olunnaku omulamuzi Yasin Nyanzi lw'anaawulira ensonga zaabwe era olwamutegeezezza nti ku Lwokutaano lwa wiiki eno ssinga tewaba kiragiro kyonna kkooti ky'efulumya bayinza okusendebwa nga bwe baabalaalika, omulamuzi Nyanzi kwe kuyimiriza enteekateeka za NEMA zonna okutuusa lw'anaawulira omusango gwabwe.

Omusango guno gwakutandika okuwulirwa nga July 6, 2020.

Abatuuze baakulembeddwa Jeff Gidaguyi Wadulo okutwala NEMA mu kkooti. Bagamba nti babadde ku ttaka lino okumala emyaka era ekitongole kya NEMA kyali tekinnatondebwawo nga bo baasenga dda ku ttaka ne bafuna n'ebyapa nga kati NEMA yaakavaayo omwaka guno n'ebategeeza nti ettaka lyabwe.

Bagamba nti abamu oluguudo Gavumenti lw'egenda okuzimba olwa Kampala-Jinja Express High way lugenda kuyita mu ttaka lyabwe era nga baamala dda okutegeeragana n'ekitongole ky'enguudo ekya UNRA ku nsonga y'okubasasula n'abamu ne basasulwa.

Baasabye kkooti eragire aba NEMA bave ku ttaka lyabwe basobole okulibeerako awatali kutya kwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....

Omukuumi abuzeeko katono ok...

OMUKADDE aloopye bba gwe bamaze naye mu bufumbi emyaka 27 lwa kumuyita malaaya n'amugoba ne mu nyumba.

Kapiteeni wa Arsenal Aubameyang ne mukama we Arteta

Arsenal lwa kuwangula FA Cu...

ARSENAL yamyumyudde likodi y’okuwangula FA Cup emirundi emingi (14) bwe yavudde emabega okukuba Chelsea (2-1) e...

Aba Digi bafunye webabajjan...

EKIBIINA ekidukanya omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga ekya Motorcycling Association of Uganda (MAU) kitongoza ekifo...